Empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere eza 2026,Omutendera gwa semifinal emipiira gyombi gyakuzannyibwa mu kisaawe e Wankulukuku ku Sunday eno nga 31 May.
Engo egenda kuzuzumba ne Nkima kusaawa 8 ezemisana, ate nga e Mamba Kakoboza egenda kwambalagana ne Kkobe kussaawa 10 ez’olweggulo.
Engo okutuuka ku semifinal yawandulamu e Nnyonyi Nakinsige ku goolo 1-0 ku quaterfinal.
Enkima yawanduddemu Omutima Omusagi ku goolo 4-3 eza peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 1-1.
Emamba Kakoboza yawanduddemu Akasimba ku goolo 1-0.
Ekkobe lyawanduddemu e Ngabi Ennyunga ku goolo 2-1 eza peneti oluvanyuma lw’okulemagana 0-0.
Mungeri n’emipiira egy’omutendera gwa quaterfinal ne semifinal mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’okubaka nagyo gigenda kuzannyibwa ku Sunday nga 31 May, mu kisaawe e Wankulukuku.
Final y’empaka z’ebika bya Baganda ez’omwaka guno zigenda kuzannyibwa nga 06 June, mu kisaawe e Wankulukuku.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












