Emupiira guno gubadde mu Kisaawe e Wankulukuku nga goolo ewadde emmamba obuwanguzi eteebeddwa Mutebi Patrick mu kitundu ky’omuzannyo ekisoose.
Mu mupiira ogwokubiri oguzannyiddwa ekiro ku bitaala mu kisaawe e Wankulukuku, Omusu gumezze Ente ku goolo 3-1.
Goolo eziwadde Omusu Obuwanguzi ziteebeddwa Nsimbe Martin ne Nsimbe Badru, ate ey’Ente neteebwa Derrick Kakooza, nga Ente esubiddwa penati ebadde egiweereddwa okusobola okugobaagobako.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza omutindo ogwoleseddwa mu mizannyo gyebika , nategeeza nti empaka zino zongeddwa obuyiiya okwongera okusikiriza n’okuzagazisa abantu.
Ali Balunywa kitunzi wa Airtel Abavujirizi abakulu abe Mpaka zebika bya Baganda, akunze bazzulu ba Nambi Okwongera okuwagira ebika byabwe.
Amyuka RCC we Lubaga Moses Ariho, agumiza abantu ba Kabaka okugya nga mu bungi okulaba emipiira gyekiro, kubanga bo webali okubawa obukuumi.
Wabaddewo nabazukulu okukumba n’okuyisa ebivvulu nga basinziira mu Bika byabwe, era gwetabiddwako Bajajja Abataka Abakulu Ab’obusolya . Ba Minisita mu Bwakabaka , abaami ab’amasaza nabantu abalala bangi.
Bazzukuku ba Nsamba abe Ngabi be bannantameggwa b’empaka ezasembayo ez’omupiira ogw’ebigere, ate bazukulu ba Mbazira abe Nnyonyi Nyange be bannantameggwa b’empaka ez’okubaka era omwaka ogwayita 2025.#