Obwakabaka bwa Buganda butongozza Eryaato ettongole erigenda okukozesebwa mu mpaka z’amaato ga Buganda eza 2024, n’amateeka aganaagobererwa mu muzannyo guno.
Eryato lino litongozeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku Nnyanja ya Ssaabasajja Kabaka mu Ndeeba, era nga byonna ebiririko omuli Enkasi ,ne Kalonda omulala bituukanye n’omutindo.
Katikkiro asabye abagenda okwetaba mu mpaka z’Amaato ga Buganda agamanyiddwa nga Buganda Royal Regatta 2024 okugoberera amateeka, obutavumaganya muzannyo guno.
Minister w’Abavubuka ,ebyemizannyo n’Ebitone mu Bwakabaka Owek Robert Sserwanga ategeezezza nti Empaka z’amaato mu Buganda zakutandika nga 30.3.2024 ku mwalo e Bunjako, nga 1.6.2024 zibeere ku mwaalo e Nakiwogo, ez’akamalirizo zakubeera ku mwalo e Kaazi mu Ssaza Busiro nga 24.8.2024.
Ssentebe w’Olukiiko oluddukanya Empaka z’Amaato ga Buganda Eng.Ben Misagga, agambye nti entekateeka zonna zaakugobererwa mu bwesimbu,naasaba amasaza gonna okwetegeka ekimala.
Bisakiddwa: Kato Denis