Emmotoka lukululana enneetisi y’Amafuta ekutte Omuliro neesaanawo, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.
Bino biguddewo ku makya ga nga 8 February,2025 ku kyalo Kiwawu okumpi n’essamba y’amajaani eya Kiwawu tea estate.
Ayogerera police y’ebidduka mu ggwanga Michael Kananura, agambye nti tebanamanya oba mulimu omuntu afiiriddemu.#
Bisakiddwa: Kato Denis