Olukiiko oluddukanya empaka z’ebika by’Abaganda lwongezaayo emipiira gyonna egibadde gigenda okuzannyibwa enkya ku friday nga 08 ne nga 10 May,2026 olw’okusaba kwa ttiimu z’ebika ezisinga obungi.
Mu kiwandiko ekifulumiziddwa olukiiko oluteesiteesi, lukakasizza nti mu bwangu ddala bakulaga ennaku endala emipiira gino lwegigenda okuzannyibwa.
Ebika byonna bibadde byakuzannya emipiira egy’okubiri mu kibinja, nga mu kiseera kino ebika byonna byakazannya omupiira gumu gumu mu kibinja.
Ku mutendera gw’ebibinja, ebika munaana birwana okwesogga omutendera gwa ttiimu 16 okwegatta ku bika ebirala okuli Engabi Ensamba, Endiga, Enseenene, Ekkobe, Engabi Enyuunga, Emmamba Kakoboza, Omutima Omusagi ne Ngo.
Empaka ez’ebika by’Abaganda ez’okubaka zo zaatuuse ku mutendera gwa quarterfinal, era olukiiko mu bwangu ddala lugenda kukakasa ennaku emipiira egy’omutendera guno ne semifinal lwe gigenda okuzannyibwa.
Final y’empaka z’ebika by’ABaganda ejja kubeerawo nga 06 June,2026 e Wankulukuku.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe










