Bannamateeka ba Rtd.Col.Dr.Kiiza Besigye boolekedde ekkomera e Luzira okumusisinkana,okwongera okwekkaanya embeera gy’alimu, nga kitegeerekese nti yayawuddwa ku basibe abalala, ate nebagaana n’abantu be okumutwalira eby’okulya.
Akulira ekibiina kya FDC ekiwayi kye Katonga era munnamateeka Lordmayor Ssalongo Erias Lukwago asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire n’ategeeza nti abantu ba Besigye tebakyakkirizizibwa nabo kumusemberera nga bagenze okumukyalira, wabula assibwa mu kayumba akalimu endabirwamu mwebasobola okumulengerako, olwo nebogera naye ku ssimu.
Wabula Omwogezi w’amakomera Frank Baine agambye nti Besigye bamugaanye kumuleetera eby’okulya okuva ebweru w’ekkomera, era nebamutegeeza nti eby’okulya byonna byetaaga asobola okubigula okuva ku Canteen mu kkomera.
Erias Lukwago agambye nti embeera egyebatandise okuyisaamu Besigye yandimuviirako obuzibu, singa ateekebwa ku kisenge n’azira emmere.
Besigye yakwatibwa nga 16 November,2024 e Kenya gyeyali agenze okwetaba ku mukolo gw’okutongoza akatabo ka munnabyabufuzi era Munnamateeka Martha Karua, n’akomezebwawo mu Uganda ne munne Hajji Obed Kamulegeya.
Baaggulwako emisango gy’okusangibwa n’emmundu, n’okubeera mu lukwe lw’okuvuunika government ya NRM.