Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 ya buwumbi bwa shilling 209.410,622,250, egenda okutambulizibwako enteekateeka z’enkulaakulana y’abantu ba Kabaka, ku mulamwa ogugamba nti Teri Kubongoota ( leaving no one behind).
Embalirira eno yesoose mu kuteekesa mu nkola Nnamutaayiika wóbwakabaka owómwaka 2013 -2028, owókuleetawo enkyukakyuka mu byénfuna.
Mu ngeri yeemu embalirira eno egenderera okuteekesa mu nkola, enteekateeka empya (new model for the new normal) eyókweyambisa obuwangwa nénnono okutumbula ebyenfuna nénkulakulana yábantu.
Omwaka gw’eby’ensimbi 2022/2023 embalirira ya buwumbi 154,849,026,314/= yeeyayisibwa, wabula wegwagwerako nga Obuwumbi 174,414989243/= zezaafunibwa, ekivudde ku nnyingiza yénsimbi eyeyongeddeko okulinnya nébitundu 10.5%.
Embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 esuubirwa okuvujjirirwa ensimbi ezinaava mu Ttaka ly’obwakabaka, Ebibiina by’obwegassi, Enkuluze ,Ebitongole by’obwakabaka, ensimbi ezibaanjibwa government n’ebintu ebirala.
Ezimu ku nsonga ezigenda okusinga okusoosoowazibwa kuliko kulambula abali mu Bwegassi, Okwagazisa abantu mu Buganda okubaako byebakola omuva ensimbi , omuli Obulimi n’Obulunzi, Okutandikawo program “Tobongootera ku ttaka mu kitongole k’Ebyobulimi mu Bwakabaka ki BUCADEF, Okulwanyisa Mukenenya, Okusima enzizi n’ensonga endala nyingi.
Obwakabaka bulina enteekateeka y’Okugula Tractor ezigenda okukozesebwa abalimi mu buli Ssaza, okwongera ku bungi bwebirime n’Omutindo gwabyo, okuvuganya obulungi ku katale k’ensi yonna, saako okukubiria abantu okusigala mu byalo balime.
Obwakabaka bulina enteekateeka ey’okugula ekyuma ekikebera omutindo gw’Ettaka, kiyambeko abalimi obutamala galimira ku ttaka nga tebamanyi oba byebalimako bivaamu ebibala ebyegasa, nga bino bigenda kussibwa mu kibangirizi ky’Amakolero ekya Buganda ki Buganda Industrial Park.
Mungeri yeemu Obwakabaka bulina enteekateeka y’okuzimba Ekyuma ekisunsula Emwanyi ,okwanguya n’okwekeneenya omutindo gwezo ezitundibwa ku katale ka Uganda nénsi yonna.
Kino kyesigamiziddwa ku kukulinnya kwóbungi bwémmwanyi ezirimibwa mu Buganda ezirinnye nébitundu 40%.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era nga ye muwanika w’Obwakabaka,agambye nti Obwakabaka bwakufuba okusaawo ebintu ebitwala Buganda ku ntikko, nga buwagira abantu baabwo nga bulambikibwa Ssaabasajja Kabaka.
Owek.Nsibirwa agambye nti Obwakabaka buwagidde emirimu gy’Abataka abakulu ab’obusolya: okulabirira ekkakakalabizo lyabwe, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obukwata ku ntambula yabwe, n’okukung’aanya ensimbi eziva mu bbaluwa ezitwalibwa ku mikolo gy’okwanjula.
Akaalo amatendo
Mulimu n’okunnyikiza akaalo amatendo, akalimu amaka amalungi, wamu n’okusimba emiti okuggumiza ebibira bya Ssaabasajja Kabaka.
Obukugu
Mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza, buteeseteese okutandikawo enkola ey’okulondoola abavubuka abasomye nebakuguka “labour market Information System” okuyambako okumanya obukugu bw’abaasoma naye nga tebalina mirimu, olwo abeetaaga abakozi babettanire.
Oluwalo
Oluwalo lwavaamu ensimbi ezisoba mu kawumbi ka shs akalamba, ezimu nezizzibwayo okukulakulanya amagombolola, okusima enzizi, Okukola emirimu gy’embuga, okukwasizaako enkola ya mmwanyi terimba n’ebirala.
Ebirala ebituukiddwako:
-Okunywezxa enkola ya bannamikago (okuva ku nkola ey’obuvujjirizi okudda ku nkola ya bannamikagoi
-Government eya wakati okusasula ku nsimbi ezijibanjibwa(ku buwumbi 500 obujibanjiba yasobodde okusasulako obuwumbi 5
-Okukula kwa kampuni n’ebitongole by’obwakabaka mu by’obusuubuzi n’obuweereza
-Ebitongole by’obwakabaka okwongera amaanyi mu kubunyisa olulimi oluganda mu nsi yonna (Entanda ya Buganda ku CBS)
-Okwogerera omupiira gwa world cup ogwa 2022 mu luganda ku DStv
-Okugulira amagombolola pikipiki 71 okwanguyaako okutuusa obubaka ku bantu ba kabaka mu byalo obukwata kukulwanyisa mukenenya.
-Kampuni ya mmwanyi terimba Ltd eyongedde okusuubula, okusunsula n’okutunda emmwanyi ebweru wa Uganda (yakasuubula tani eziwera 200).
Mu lutuula lw’olukiiko olwokusatu olw’omulundi ogwa 31, Olukiiko luyisizza ekiteeso ekisiima Katikkiro Charles Peter Mayiga okwetaba mu lukumgaana lwa UNESCO olwatudde mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia, olwayisizza ekiteeso ekiggya amasiro g’e Kasubi ku lukalalala lw’ebifo eby’enkizo oluli mu katyabaga.
Katikkiro asabye government eya wakati okusaawo omutemwa gw’ensimbi mu mbalirira y’eggwanga ezinaayambako okulabirira amasiro.
Katikkiro era ajjukiza KCCA okuyisa ekiteeso ekifuula amasiro akabonero ka Kampala, okutumbula eby’obulambuzi.
Mu lutuula lwe lumu luno olukubiriziddwa omumyuka wa sipiika Owek.Ahmed Lwasa, asoose kukubisa birayiro omwami w’essaza Buvuma Mbuubi Owek. Michael Mboowa ebimukkirizza okuteesa mu lukiiko lwa Buganda era n’afuuka memba omujjuvu#