Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga aka Electoral Commission of Uganda kafulumizza entegeka enaagobererwa, okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North.
Eyali omubaka w’ekitundu ekyo Muhammad Ssegiriinya yava mu bulamu bw’ensi eno ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa January 2025.
Okwekenneenya enkalala z’abanaalonda omubaka wa Kawempe North zitandise olwa leero nga 27 January,2025.
Ekiwandiiko ekifulumizidswa akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okuwandiika abaneesimbawo kwa nga 26 ne 27 February,2025.
Okulonda kubeerewo nga 13 March,2025.#