Ekereziya Katolika mu Uganda ejaguzza emyaka 50 beddu bukyanga etandikawo enkola eyokukwatagana n’okusinziza mu Bubondo bw’abakristu -Small Christian Communities.
Ekijaguzo kino kibadde ku kiggwa kya bajulizi e Bulooli Namugongo.
Ekitambiro kya misa kikulembeddwamu ssentebe omukwanaganya w’emirimu n’entambuza yokubunyisa ebyeddini mu kibiina ekigatta abepiskopi bonna mu Uganda- Uganda Episcopal Conference, ngera ye omusumba we Ssaza lye Hoima Bishop Vincent Kirabo.
Omusumba Kirabo asinziide wano nalajanira abakulembeze abenjawulo awamu ne banaddiini okuddamu olulwanirira empisa, obuntu bulamu, eggonjebwa n’eddiini ejebuuse mu maka.
Omusumba anokoddeyo ensonga y’obumu mu bubondo nga bweri enkulu ennyo, nti kubanga abakristu baba bamanyiganye nnyo nga basobola okuyambagana ate n’okumanya amaanyi n’obunafu bwabuli omu.
Omwepiskopi Kirabo ayambiddwako ssabasumba we Gulu Raphael Wokorach, omusumba we Kotido Dominic Eibu awamu nabasaserodooti abenjawulo.
Okujaguza kuno kwetabyemu abobubondo okuva masaza gonna 19, mu ssaza lye Kampala buli kabondo kazze n’obukulembeze bwako era bazze bakumba okulaga obukulu bw’omukolo guno.
Enkola y’obubondo mu Ekereziya yatandikibwawo ekibiina ekigatta abebiskopi mu East Africa ekimanyiddwa nga Association of Member Episcopal Conferences of Eastern Africa –AMECEA mu mwaka gwa 1973.
Enteekateeka eno yagendererwamu okuggumiza obukulembeze bwekereziya, okuva mu maka, kudako akabondo, obubondo bwebwegatta nebukola ekisomesa ate ebisomesa nebikola ekigo ate ebigo nebikola Deanery, ate Deanery nezikola Vicariate ate zzo nezikola e Ssaza.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe