
ya Uganda esabye gavumenti okuyimiriza ssinakindi okwongezaayo enteekateeka z’okulonda akalulu ka 2021, akabindabinda olwemivuyo egyetobese mu nteekateeka zino.
Ssabawandiisi weekitebe kyekanisa ya Uganda, Rev. Canon William Ongeng, agamba nti ebikolobero bingi ebitusiddwa ku banna Uganda mu kiseera kino ekyókunoonya akalulu nga babibatusaako bekweka mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid 19, olwo ebikolwa ebyokumenya amateeka nokutyoboola eddembe ly’obuntu nebyeyongera.
Rev Canon Ongeng mungeri yeemu agambye nti omuwendo gwabalwadde ba Covid 19 ogweyongera obungi mu ggwanga nagwo gwesigamiziddwa ku buzibu bwa kukunganya bantu bangi mu kunoonya abululu, nga nayo nsonga etandibusiddwa maaso akakiiko keebyokulonda okusalawo okwongezaayo okulonda kuno.
Canon Ongeng agamba nti embeera eriwo mu ggwanga mukaseera kano yeralikiriza nga esaanidde okukwatibwako mu bwangu, bataase banna Uganda abolekedde okukwatibwa eddwadde, okutusibwako obuvune oba olyawo nókufa.
Canon Ongeng okwogera bino abadde mu lukungaana lwabakulembeze bediini nabamu ku babaka ba paalamenti, lwebatuzizza ku Hotel Africa, wakati mu kukuza ennaku e 16 ez’okulwanirira eddembe lyobuntu, okulwanyisa obutabanguko nebirala, olwategekeddwa ekitongole kya Side by Side, ekiri wansi wobukulembeze bwekkanisa okutakabanira emirembe mu maka.
Rev. Ongeng agamba nti ngeggwanga liri mu kaseera akookulwanyisa obutabanguko, ebiseera ebyakalulu ate byongedde kuteekawo butabanguko nga abalina okukwasisa amateeka ate bebakanaluzaala ngabberimbika mu bintu ngékirwadde kya Covid 19.
Wabula newankubadde nga bano basaba okulonda kwongezebweyo, ssentebe waakakiiko keebyokulonda, Justice Simon Mugenyi Byabakama, yategezezza gyebuvuddeko nti okulonda kwakubaawo okuyita mu mitendera gyonna, oba mumbeera ki kubanga kino kirambikiddwa mu ssemateeka weggwanga.