
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB), kigamba nti omuwendo gwaabaana abawala abeewandiisizza okutuula ebyakamalirizo omwaka gwebyensoma guno bangi okusiinga abalenzi, newankubadde ng’abaana abawala, abafunisibwa embuto mukiseera ky’omuggalo nabo bangi.
UNEB egamba nti abaana abawala abamaze okwewandiisa okutuula ebigezo kumutendera ogwa P7 ebya PLE bakola ebitundu 52%, Ku Senior Eyokuna abagenda okutuula UCE bakola ebitundu 51%, ssonga ku senior ey’omukaaga abanatuula UACE bakola ebitundu 42% byokka.
UNEB egamba nti kino kyaliba nga kivudde ku ministry yeebyenjigiriza okulagira amasomero okuwandiisa abaana abaafuna embuto okutuula ebigezo byabwe baleme okufiirwa omwaka omulamba, era nti okutya kubaddewo kwamanyi ku nsonga yaabawala abanaatula ebigezo omwaka guno.
Mungeri yeemu UNEB ekakasizza nti ssiyakwongerayo lunaku nalumu okuwandiisa abaana abagenda okutuula ebigezo ebyakamalirizo omwaka guno, nga ekiseera ekyenaku e 10 ezaayongezebwamu kigweddeko olwaleero okuva kwezo ezaasooka okulagibwa nga 20 November.
Ayogerera UNEB, Kalule Jennifer, ategeezezza Cbs nti werutuukidde leero nga abaana ebitundu 2% ku mutendera gwa PLE tebannaba kwewandiisa, ebitundu 5% Ku S.4 tebanaba kwewandiisa ssonga abaana ebitundu S.6 12% bebatanaba kwewandiisa.
Kalule Jennifer, agamba nti tebagenda kuwaayo mukisa mulala gwonna okuwandiisa abayizi abanaaba bafikidde, kyokka naasaba abazadde nabasomesa okusigala nga balondoola ebikwata kubaana baabwe, empandiisa yamanya, nobufananyi obunaateekebwa ku biwandiiko byabayizi, era enteekateeka eno yakusigalawo okutuusa omwezi ogwokubiri eri aba S.4 ne P.7 ssonga aba S.6 ekoma mu mwezi ogwokusatu.
Ebigezo by’omwaka guno, byakutuulibwa nga 30 ne nga 31 omwezi ogw’okusatu ku mutendera gwa P.7, aba Senior ey’okuna bakutuula okutandika nga 1 okutuusa nga 31 ogwokusatu, olwo aba Senior eyomukaaga batuule ebya UACE okutandika nga 12 ogwokuna okutuusa nga 3 ogwokutaano omwaka ogujja 2021.
Abayizi ba P7 baasasudde ensimbi emitwalo 34,000 okwewandiisa, aba Senior eyokuna baasasudde emitwalo 16 mu enkumi 4000 naba Senior eyomukaaga baasasudde emitwalo 18 mu 6000.