Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala kirangiridde kyedizza enzirukanya yoobutale bwonna mu Kampala, okutuusa nga bufunye obukulembeze obugya era obutambulizibwa mu mateeka.

New app to boost market women

Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala kirangiridde kyedizza enzirukanya yoobutale bwonna mu Kampala, okutuusa nga bufunye obukulembeze obugya era obutambulizibwa mu mateeka.

Nga 25/10/2020 omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yayimiriza obukulembeze bwobutale ne lufula mu Kampala, nga entabwe yava ku baali bakulembera obutale buno okweekomya ensimbi , nookuteekawo emisolo egigambibwa nti gyaali ginyigiriza abasuubuzi.

Minister wensonga za Kampala Betty Amongi mu nsisinkano ne bannamawulire ku Media center mu Kampala ategeezezza nti okulonda kugenda kusookera mu butale 16 bwokka, era akakiiko akenjawulo akatuumiddwa Residential Management Team nga kabantu basatu kassiddwaawo okumala akaseera katono, nga okulonda okusuubirwa okubaawo nga 17/11/2020 bwekutegekebwa.

Minister Betty Amongi alabudde abakulembeze mu kiseera kino obutawooza musolo gutasaanye kuvbasuubuzi, era mu bimu ku byaamaguzi ebissiddwaako omusolo kuliko ente 15000, Enkoko 300, embizzi 5000, embuzi nendiga 3000, songa mu birala ebissiddwaako omusolo ogutagenda kulinnyisibwa omudaala gwakusasula 132,000, Lock Up 144000, ate abakolera mu bibangiriri baakusasula 78500 buli mwezi.

Omwogezi wekitongole ki KCCA Dan Nuwabiine agambye nti obukulembeze obuvuddeko tebugenda kukkirizibwabwa kuddamu kwesimbawo okumala emyaaka esatu.

Facebook Comments Box

Be the first to comment

Leave a Reply