Kyabazinga wa Busoga aliko kati ye William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV,agenda kugattibwa ne Ihnebantu Jovia Mutesi mu lutikko ya Christ Cathedral e Bugembe nga 18 November,2023.
Gabula Nadiope muzukulu wa Wilberforce Kadhumbula Nadiope III.
Wilberforce Kadhumbula Nadiope III yakulembera obusoga wakati wa 1949 -1955.
Yaddamu okukulembera okuva mu 1962 -1966 era yeyali omumyuka wa president wa Uganda, president eyaliko Milton Obote bweyawera Obwakabaka.
Gabula Nadiope IV yalondebwa olukiiko lwa Busoga nga 23 August 2014, era n’alangirirwa nga Kyabazinga wa Busoga IV.
Nga 11 February 1996 Kyabazinga Henry Waako Muloki yatuuzibwa nga Isebantu era Kyabazinga wa Busoga.
Yagattibwa mu bufumbo obutuukubu nga 21 January,1956.
Kyabazinga Waako Muloki yakulembera Busoga okutuusa nga 01 September, 2008 Mukama lweyamuyita.
Yafiira mu ddwaliro ekkulu e Mulago oluvunnyuma lw’okutawanyizibwa ekirwadde kya kookolo.
Obukulembeze bwa Busoga
Ebyafaayo biraga nti Mukyasa kye 16 abekika kye Baisengobi okuva mu Bunyoro bebaatandika okukulembera Busoga.
Mukama Namutukula eyali omulangira okuva mu lulyo lwa Babiito mu Bunyoro mu ngeri y’okugaziya obuyinza, yasalawo okuyita ku nnyanja Kyoga ng’awerekerwako mukyalawe Namudo,n’abamu ku bambowa saako embwa yabwe baatuukira mu kifo ekiyitibwa Lyingo e Kamuli nebatandika okutabaala.
Mukama yali kafulu mu kuyigga nga kwotadde n’obuweesi.
Yazaala abalenzi bataano era buli omu n’amuwa ebitundu byebaalina okukulembera , asooka nga ye Wakoli Bukooli,Zibondo yamuwa Bulamogi,Ngobi yafuna Kigulu ye Tabingwa yamuwa Luuka olwo eyali omuto Kitimbo nafuna Bugabula.
Ebifo ebyo abaanabe byebaafuna byebyafuuka ebitebe by’obukulembeze obw’ennono.
Kitaawe bweyaddeyo e Bunyoro olw’ensonga ezitannyolwa teyasobola kudda, bbo kwekutandika okusaawo obukulembeze obwenjawulo okutuusa mu kyasa ekye 19 abafuzi bamatwale lwebayingirawo nababasikiriza okutandika enkola y’okukulemberwa olukiiko olwa wamu (federation).
Obukulembeze bwa Busoga obwasooka bwatandikira Bugabula mu 1906, nga bukulemberwa Yosia Nahdiope wabula naafa mu 1913, olwo mu 1919 naasikizibwa Ezekiel Tenywa Waako owe Bulamogi,ng’ono yafuna obuvugirizi bungi okuva mu bafuzi b’amatwale.
Tenywa Waako yasomera mu Kings college Budo .
Mu 1918-19 baagunjawo ekitibwa kya Isebantu Kyabazinga era nekitandikira ku Waako .
Nga 11 February 1939 Ezekiel Tenywa Waako kitaawe wa Kyabazinga Henry Waako Muloki yatikirwa mubujjuvu nga Kyabazinga wa Busoga eyasookeera ddala mu luse oluliko kati, era nakulembera Busoga okuusa mu 1949.
Tenywa ng’avudde mu bulamu bwensi, olukiiko lwa Busoga lwasalawo nti obwa Kyabazinga butekeddwa okulondebwa mu nyiriri za Baise Ngobi (Ababiito) era nga bano bebaana abataano aba Mukama wa Bunyoro eyasenga mu Busoga.
Mu 1949 owekitibwa William Wilberforce Nadiope Kadhumbula owe Bugabula yalondebwa nakulembera okumala emyaka mukaaga okutuuka mu 1955.
Mu kiseera ekyo Ekitiibwa kyamukyala wa Isebantu kyagunyibwawo ng’ayitibwa Inhebantu.
Olukiiko lwa Busoga luliko abakulembeze ab’ennono 11 kino okuli ab’Olulyo olulangira bataano, n’abakulembeze b’ebika mukaaga.
Katukiro wa Busoga:
Katukiro wa Busiga aliko ye Joseph Muvawala Nsekere.
Wofiisi ya Katukiro yevunanyizibwa ku kulambika n’okudukanya emirimu gy’obukulembeze bw’ennono ya Busoga.
Ebisikiriza ebiri mu Busoga:
Bino byebimu ku bisikiriza abagenyi n’abalambuzi okutuukako mu bwakyabazinga bwa Busoga gamba nga.
Kagulu Rock: Kino ky’ekifo omwatuukira Mukama eyatandikibwako Obwakyabazinga bwa Busoga.
Budhumbula Palace.
Wano wewali olubiri lweyaliko Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Kadhumbula Nahdiope eyafa mu 1976. Yaziikwa mu kifo kino nebengandaze abalala bangi.
Wano era wewali n’ekifo ky’abafuzi b,vamatwale abangereza kyebakwasa Busoga mu 1914.
Ensibuko y’omugga Nile oba Kiyira:
Omugga guno gwegwokubiri okuba omuwanvu obunene munsi yonna gusomboola abalambuzi okuva ebule n’ebweya okwerolera ku nsibuko yagwo.
Bujagaali Falls
Ebiyiriro ebyakazibwako Bujjagali Falls bisangibwa mu Busoga.
Kuno kwekusangibwa ebbibiro ly’amasanyalaze eriyitibwa Bujagaali Dam.
Bishop James Hannington Shrine:
Ekifo kino kisangibwa mu district ye Mayuge, musajja wa Katonda ono nabayambibe 48 webagambibwa okuba nti webattirwa, bweyali agezaako okubunyisa enjiri ya Katonda mu 1885.
Kyabazinga Mwenemu afunvuwe.!
Bikungaanyiziddwa: Tamale GeorgeWilliam