Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya 2024 kitandise ku ssomero lya Hormisdallen School e Gayaza gye bagenda okubangulibwa mu bintu ebyenjawulo.
Ekisaakaate kigenda kumala ebbanga lya wiiki 2 n’ennaku 4.
Ekisaakaate Gatonnya eky’omulundi guno kitambulira kumulamwa ogugamba nti Okulafuubanira obuntubulamu.
Abasaakaate bonna bakungaanidde ku Bulange e Mengo, era webasinzidde neboolekera Hormisdallen school e Gayaza.
Kitandise leero nga 04 okutuuka nga 20 January 2024.
Ssaabagunjuzi w’e Kisakate Kya Nabagereka era akiikirira abavubuka ba Nkobazambogo mu Lukiiko lwa Buganda olukulu Owek Rashid Lukwago, agambye nti bagenda kubangulibwa mu miru egyenjawulo egizimba obwongo bwabwe, n’okubateekateeka okubeera abantu ab’obuvunaanyizibwa.
Ebifaananyi: MK Musa