Empaka z’ebika by’abaganda ziddamu okutojjera omwaka guno 2022, zitandika nga 11 June.
Omupiira oguggulawo empaka zino gwakubeera ku kisaawe ky’e Kasana Luweero mu ssaza Bulemeezi, bazzukulu ba Mutesaasira eb’ekika kye Ngo bagenda kuttunka ne bazzukulu ba Mutasingwa ab’Embwa.
Obwakabaka bwebuvujjirizi obukulu mu mpaka zino ez’ebika omwaka guno, okwawukanako n’empaka ezaayita. Muteekeddwamu obukadde bwa shs 130.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga azitongozza, oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tezizannyibwa, olw’omuggalo ogwaleetebwa ekirwadde ki covid 19.
Katikkiro agambye nti emipiira gy’ebika bya Baganda kkubo ddene ddala erigenda okuyitimusa ekitiibwa kya Buganda, ate n’okukuuma abantu ba kabaka nga bali bumu.
Annyonyodde nti omupiira gw’ebika kye kimu ku byasinga okukumakuma abaganda okutuusa mu 1993, Ssaabasajja Kabaka lweyatuuzibwa ku Namulondo e Naggalabi.
Ku mukolo guno Katikkiro ayanjulidde obuganda engabo egenda okuwakanirwa, ebadde yeterekebwa abekika ky’Olugave era yeyakozesebwa ng’empaka zino zitandika mu 1950.
Minister w’ebyemizannyo mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe asabye abazukulu okuwagira ebika byabwe n’obusobozi bwonna bwe balina.
Omutaka Namwama Augustine Mutumba, agambye nti empaka zino sizakusamba busambi mupiira, wabula n’okuggyayo ennono n’obuwangwa bw’abaganda.
Empaka z’ebika by’aganda zaatandika mu 1950, wabula obwakabaka webwajjibwawo mu 1966 empaka zino nazo zaayimirira, okutuusa Ssaaabataka Ronal Muwenda Mutebi II lweyakomawo okuva mu buwanganguse mu 1985 nezitojjera buto okutuusa kakano.
Ssentebe we mipiira gino Katambala Al Hajji Magala Sulaiman yeyamye okutuukiriza obuvunanyizibwa buno ate nokusitula ekitiibwa kye mpaka zino.
Ebifaananyi: Musa Kirumira