Obwakabaka bwa Buganda, kampuni ya Aqua Fina, ABSA Bank Uganda, ne bannakyewa abatakabanira obutonde mu mukago ogwa Uganda Biodiversity Fund, (UBF), batongozza kawefube atuumiddwa “Ekibira Kya Kabaka”, n’ekigendererwa ekyokuyambako mu kuzaawo obutonde obusanyiziddwawo mu Uganda.
Enteekateeka y’Ekibira kya Kabaka, yakumala emyaka 5 era yaakutambuzibwa mu masaza ga Buganda gonna e 18, nga buli ssaza lyakuwaayo ekitundu ewanaasimbibwako ekibira mu kawefube w’okuzaawo obutonde nebibira ebisanyiziddwawo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka eno eyekibira kya Kabaka ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti governmrnt esaanidde okukomya okuwa ba musiga nsimbi omwaganya okutyoboola obutonde, mu kwerimbika mu nteekateeka nti bagenda kutondawo mirimu.
Katikkiro era ayagala abantu okuteekebwako etteeka mu Uganda nga tebakirizibwa kutema miti gyonna kugimalawo wadde nga bebaajisimba, okutuusa nga bafunye olukusa okuva mu bakwatibwako.
Katikkiro era asabye banna Uganda okujjumbira okusimba emiti ku bifo ebyenjawulo, amasinzizo, ku makubo neewalala.
“Tulina obuvunaanyizibwa okukuuma ekitiibwa ky’eggwanga lyaffe nga tukuuma obutondebwensi, eyo y’ensonga lwaki Uganda eyitibwa eddulu lya Africa. Tulina okwewala okutataaganya entobazi.” – Katikkiro
Katikkiro agambye nti waliwo ebirungi bingi ebijjira ku kusimba emiti n’okukuuma obutondebwensi, okugeza, okufuna omukka gwe tussa ate emiti gyetaaga omukka gwetufulumya, emiti gituwa amazzi, eddagala, n’ebyobuwangwa.
Katikkiro agambye nti waliwo obwetaavu bw’okukubiriza abavubuka okwenyigira mu ntegeka y’okukuuma obutondebwensi.
Minister avunaanyizibwa ku butonde ne Bulungi bwansi mu Bwakabaka, Hajjati Mariam Mayanja Nkalubo, agambye nti eno yeemu ku nteekateeka y’Obwakabaka ey’okukulemberamu bulungi bwansi omwaka guno, era bagirinamu essuubi ddene mukuzaawo obutonde bw’ensi.
Omukungu okuva mu kitongole kya NEMA, Francis Ogwal, nga yabadde omusomesa owenjawulo ku butonde bwensi agambye nti kisaanidde buli muntu okukwatira awamu mu lutalo lwokuzaawo obutonde bwensi mu Uganda, obutalulekera government.
Ssali Damascus ne Ddamulira Ssempuuma, abakugu mu by’okunonyereza ku butonde n’obuwangwa basinzidde mu musomo guno nebasaba banna Uganda okubeera bakalabaalaba b’obutasanyawo butonde bwensi nti kuba bolekedde okumalawo obuwangwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis