
Ekibiina kya National Unity Platform kitongoza era nekyaanjula eri eggwanga mu butongole ekifanaanyi kyomukulembeze wekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu, kyagenda okukozesa mu kunoonya akalulu komwaka oguggya 2021 nga ekifanaanyi kyekimu kyekigya okukozesa ku kakonge kobululu komwa 2021.
Ekifaanyi kino kyanjuddwa bannakibiina kino abakulembeddwamu omumyuufu womukulembeze wekibiina kino atwaala obukiiko ddyo bweggwanga Lina Zedriga Waru ku office zekibiina kino e Kamwokya
Ekifaanyi kino obutafananako nebifanaanyi ebirala ebize bitimbibwa mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo, Robert Kyagulanyi Ssentamu tayambadde kakofiira ka People Power,amannya amatongole agali ku kifanaanyi kino gega Kyagulanyi Ssentamu Robert nga wansi waago wewatereddwa erinnya erimanyibwa ennyo eri ensi erya Bobiwine.
Omubala ogutereddwa ku kifaanyi kino gugamba nti A New Uganda ekitegeeza nti Uganda empya, era abakulu mu kibiina kino gwebalambuludde.
Lina Zedriga Waru omumyuuka womukulembeze wekibiina kino mu bukiiko ddyo bweggwanga, agambye nti omubala guno guyimirira ku Uganda empya nga tewali munnansi yenna ali waggulu wamateeka , Uganda empya nga buli munnayuganda essibwaamu ekitiibwa, Uganda empya nga buli munnayuganda asobola okutuusibwaako obuweereza, Uganda empya nga buli munnansi yeyagalira munsi ye nga teri amukubye ku nsolobotto nga tewali anyigirizibwa.
Joel Ssenyonyi omwogezi wekibiina kino asoomozeza akakiiko kebyokulonda okukoma ku bitongole ebikuuma ddembe ebize birabwaako nga bitimbula ebipande byabannakibiina kino , era naabo abakuuma ddembe abaze bakwaatibwa mu butambi bakangavvulwe.