Ekibiina kya National Unity Platform kitongoza ekibiina ky’abagoba ba Bodaboda abasuka mu 27000 abagenda okunoonyeza omukulembeze w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu akalulumu nkola eya Science.
Ekibiina kino bakitongoleza Kawempe era kijidde mu kiseera nga n’ekibiina kya NRM ekiri mu buyinza sabiiti ewedde kyakatongoza ekibiina ky’abagoba ba Bodaboda ekigenda okunoonyeza Gen Yoweri Museveni akalulu.
Ekibiina kino kyakukulemberwa Abdul Kabenge era ono agamba nti ekibawagiza Kyagulanyi Ssentamu kubwa Presidenti kwekubanga buli nsonga gyaakonako yeluma abantu babuligyo.