Ekibiina kya FDC kikungubagidde eyaliko mmeeya w’ekibuga Kampala Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala eyavudde mubulamu bwensi eno kulwomukaga lwa sabitti ewedde oluvanyuma lwokudusibwa muddwaliro lya IHK nga embeera ye tewomesa nakabululu.Fdc egamba nti Ssebagala ye muntu abadde tasosola muntu yena era nti yomu ku bakulembeze abakyusa ebyobufuzi byekibuga Kampala era nti bannayuganda nadala abakulembeze balina okumulabirako.
Ekibiina ky’ebyobufuzi ekya FDC kirangiridde sabiiti ejja nga mukaaga nti lwe lunaku lwekigenda okusalwo eggoye kwani agenda okukikwatira bendera kukifo ky’omukulembeze w’eggwanga.Abantu babiri bebaavaayo okuvuganya ku kifo kino nga kuliko pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat saako ne ssentebe w’ekibiina mu ggwanga lyonna omulongo Wasswa Biriggwa.