Ekibiina ki National Unity Platform kirangiridde eyali munna FDC, Nabirah Naggayi Ssempala nti yagenda okukikwatira Bendera ku kifo kya Loodimeeya mu kulonda okujja.Kyokka akakiiko akasunsula kabadde kalangirira Nabirah nga Poliisi e Makindye ettunka n’Abawagizi ba People Power ababade bawerekera abantu baabwe okugenda okwewandiisa. Kino kidiridde Nabirah okulangirwa nga yakize ku mune bwebasunsuddwa olwaleero Ssali Saula ku kifo kyekimu.