Ssaabaminisita wa Robinah Nabbanja akiikiridde President Yoweri Kaguta Museveni okutema evvuunike ly’okuzimba eddwaliro ly’abalwadde b’emitima e Naggulu mu Kampala.
Mu bubaka bwe, Museveni agambye nti enteekateeka eno ey’okuzimba eddwaliro lino kikulu nnyo kubanga kyakukkendeeza ku muwendo gwa banna Uganda abafa olw’obulwadde bw’emitima.
Eddwaliro ly’emitima eriri e Mulago (Uganda Heart Institute) libadde lifunze ng’abalwadde tebakyajaawo wamu n’ebyuma eby’omulembe.
Mu nteekateeka eno, government yeewola ensimbi obukadde bwa Ddoola za America 70 okuzimba n’okussa ebyuma ebyomutindo mu ddwaliro lino, kikendeeze ku muwendo gw’abagenda okujjanjabirwa ebunaayira n’okufuna abasawo webakolera okunoonyereza ku bulwadde n’enzijanjaba y’emitima.
Eddwaliro lino lyakuyambibwako bannamikago okuli BADEA, OPEC Fund ne SFD.
Omukolo gw’okutema evvuunike gwetabyeko omubaka wa Saudi Arabia mu Uganda omulonde H.E Mohammed Bin Khalil Faloudah abaddewo ku lw’ekitongole kya Saudi Fund for Development abamu ku bavujjirizi b’omulimu guno.
Enteekateeka y’eddwaliro nga liwedde okuzimba
Lyakussibwamu ebitanda by’abalwadde 250.
Lijjakuba n’obusobozi obujanjaba abalwadde b’emitima 7000 buli mwaka.
Minister w’ebyobulamu Hon Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti eddwaliro lino lyakuyamba nnyo okukoleramu okunoonyereza okw’omuggundu, n’okuyamba mu kubangula abasawo mu by’endwadde z’emitima.
Ssenkulu wa Uganda Heart Institute Dr. John Omagino agambye nti eddwaliro lyakutuula ku bwagaagavu bw’ettaka lya yiika 10.
Llyakubaamu ebitanda by’abayi (ICU) 40.
Obusenge omulongoosezebwa abalwadde 3.
Amakeberero g’omusaayi ag’omutindo 2.
Dr. Omangino agambye nti okusinziira ku nteekateeka, baakuwa banna Uganda obujjanjabi bw’obulwadde bw’emitima obutuufu n’okusinga agamu ku mawanga gyebabadde baddusibwa.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K