Omulimu gw’okuzimba eddwaliro ery’omulembe ery’Obwakabaka bwa Buganda mu ssazza Singo gubulako ennaku 9 zokka okuweza omwaka omulamba kasookeddenga mulimu guno gutandika.
Eddwaliro lino lizimbiddwa mu gombolola ye Busimbi era nga lyawebwa erinnya erya Muteesa II.
Bweyali atongoza omulimu guno nga 2 May,2023 Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga yalagira ba contractor abaaweebwa omulimu guno okugumaliriza mu mwaka gumu gwokka.
Wetwogerera omulimu guno gutuuse ku mutendera gw’okuyooyootebwa okusembayo.
Enteekateeka yeemu egenda bukwakku mu ssaza Buddu ne Kyaggwe.#
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi