
Ebyo nga bikyali awo, Omukago ogutaba ebibiina mu paalamenti ogwa Inter-party Organization for dialogue, guwandiikidde abatwala ebitongole ebikuuna ddembe ku kizibu ky’abamu ku bakuuma ddembe abatakanya nakusalawo ku kumba ya kampeyini kwabakulembeze bebibiina ebyenjawulo ekiviriddeko obutabanguko.
Omukago guno gugamba nti ebikolwa ebyokulemesa abamu ku bantu abeesimbyewo okunoonya obululu n’okukuba kampeyini, kiraga obutali bwenkanya mu byokuLonda sso ng’akadde kaweddeyo akookweteekateeka.
Frank Lusa, akulira ekitongole ekya Netherlands Institute for multiparty democracy, ekivujjirira omukago gwa IPOD, mukwogerako ne CBS agamba ekibatwala okusisinkana abakulira ebitongole byebyokwerinda kwekwongera okubunyisa enkola eyokutumbula emirembe, nokukendeza ku butali bwenkanya.
IPOD eri mu kawefube wakulaba nga okulonda kwa 2021 tekubeeramu mivuyo, okuyiwa omusaayi n’okulwanagana, munteekateeka gyebaatuma “Nnondawo Ddembe”, kyokka nti newankubadde nga abakulmbeze beebibiina byonna mu Uganda baateeka emikono ku ndagaano eno, abeebyokwerinda bakyalemesa nnyo kawefube ono okuteekebwa mu nkola.
Frank Lusa, agamba nti kino kitaddewo obunkenke mu by’obufuzi bya Uganda mu kalulu kano akabindabinda, kyokka nti baakukola ekisoboka okulaba nga obunkenke buno bukomezebwa.
Arold Kaija, amyuka ssabawandiisi weekibiina kya FDC, agamba nti ebintu bingi omukago gwa IPOD gwebakaanyako nebirema okuteekebwa munkola ssinga abakukira ebitongole nga bino tebafuna bwetengereze mu nkol yeemirimu gyabwe.
Wabula ye ayogerera Police ya Uganda, Fred Enanga, agamba nti naabamu kubannabyabufuzi bebaleetera abeebyokwerinda embeera eyobutabanguko olw’obutaagala kkolagana neebiragiro by’abeby’okwerinda mukiseera eky’okunonya obululu.