Kalonda eyava mu kwekebejja endagaluse zeeyali emunyeenye ya Uganda mu kisaawe ky’okuyimba Omugenzi Prince Job Paul Kafeeero n’abaana 25 abagambibwa nti bonna babe, byakufulumizibwa ku Thursday nga 25 June,2026.
Kafeero yafa mu mwaka gwa 2007 gy’emyaka 19 egiyise, wabula okuva olwo wabaddewo okusika omuguwa wakati w’abaanabe’ nga ttagali ava ku baana abamu okuboola banaabwe nti ssi bamugenzi Paul Kafeero.
Bweyali akyali Minister w’abaana n’abavubuka Balaam Barugahare nga asinziiira ku kiragiro kya Kooti, yalagira Police eziikuleyo ebisigalira bya Paul Kafeero mu Kyaggwe, byekebeggyebwe wamu n’abaana 25 abagambibwa nti babe.
Minister Balaamu nga kati ye minister wa government ez’ebitundu ayise ku kibanja kye ekya X, naalangirira nti okwekebeggya endaga butonde kuno kwawedde.
Agambye nti ng’ennaku z’omwezi 25 June,2026 wakwegatta ku director wa Police Andrew Mubiru avunanyizibwa kwekebeggya ebizibiti n’endaga lussewamu ne ssenkulu wekitongole kya government ki Governement Analytical Laboratory Kepher Kuchana Kateu ku kitebe kya Police e Naguru okufulumya ebyava mu kwekebeggya endaga lusse z’omugenzi Paul Kafeero n’abaana 25.
Minister Balaam alangiridde nti ebyava mu kwekebeggya endagaluse byakuweebwa bannamawulire, abooluganda, abaana, bannamwandu, baganda bomugenzi Kafeero, ebenju yomugenzi nabaali mikwano gyomugenzi abatonotono abanaaba bayitiddwa.#











