Ministry y’ebyenjigiriza erangiridde nti ku Thursday nga 23 January,2025 lw’egenda okufulumya ebyava mu bigezo eby’ekibiina ekyomusanvu ebyakolebwa omwaka oguwedde 2024.
Abakungu mu Kitongole kya UNEB basisinkanye Minister w’ebyenjigiriza era mukyala w’Omukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni okumuyitiramu ebyava mu bigezo bya eby’ekibiina ekyomusanvu.
Abayizi emitwalo 798,771 be batuula ebigezo, abayizi emitwalo 41 9,357 bawala ate emitwalo 379,414 balenzi.
Minister Omubeezi owebyenjigiriza n’ebyemizannyo Peter Ogwanga asinzidde mu Parliament naalangirira nti buli kimu kiwedde okufulumya ebyava mu bigezo ku lunaku olwokuna.#