Ebitongole byebyokwerinda okuli amaggye ne Police byoogedde kaati nti tebigya kwetonda olwokukuba bannamawulire nokubatuusaako obuvune, ababikulira bagambye nti bannamawulire balina ekigendererwa ekyokutattana ekifanaanyi kyebitongole bino, nti bityoboola eddembe lyobuntu.
Ssenkulu wa Police Martin Okoth Ochola asinzidde ku kitebbe kya Police ekikulu e Nagulu, bannamawulire bwebamubuuziza ku ffujjo lyebitongole byebyokwerinda eri bannamawulire, naagamba nti police ssi yekola effujjo ku bannamawulire, wabula bannamawulire bebakola efujjo ku Police nekigendererwa ekyokulaga nti police byekola byabulabe nnyo eri abantu.
Ochola agambye nti Police terina lunaku nalumu lwegenda kwetondera bannamawulire era tebakirowozaako, wabula Police yakugenda ngekuba abo abagezaako okussuka webalina okukola, naagamba nti ebiseera ebisinga okukuba bannamawulire police ekikola kutaasa bannamawulire obutagenda wali buzibu.
Cue in ………..Ochola we won’t apologize
Maj Gen Sam Kavuma amyuuka omudduumizi wamaggye gokuttaka,bannamawulire okukubwa abakuuma ddembe omusago ogubataddeko nti bennyini bagenda nebakwaata amawulire gabannabyabufuzi abamenya ebiragiro byakakiiko kebyokulonda nga bakungaanya abantu abangi, bayisa ebivvulu, abalala batambulira ku mmotoka waggulu kale nga ebebyokwerinda bwebatuukayo okugumbulula abantu bano kiba kizibu okwawulamu bannamawulire kuba nabo babeera mu bifo bikyaamu.
Amyuuka omudduumizi wa Police Maj Gen Paul Lokech agambye nti munsi yonna, bannamawulire mu Uganda ssi bebakubwa bokka, ensi endala bakubwa nnyo nokusingawo wabula bannamawulire nebawandiika ebiyitirivu nti police ya Uganda nkwambwe nnyo eri abamawulire nebannansi
Lokech asuubiza noomu ku bannamawulire okutuulako naye amubuulire police esinga obukambwe mu nsi yonna.
Akulira ebikwekweeto mu police Edward Ochom agambye nti waliwo abantu abaze bakwaatibwa ku ttiimu yavuganya kubwa President Robert Kyagulanyi abalina emikutu ku facebook egibeera obutereevu nga giwereza ebyo ebigenda mu maaso, wabula nga beeyita bannamawulire balina ne jacket zabannamawulire kwekunenya bannamawulire obutaloopa bantu bano, bagambye nti battattana omulimu gwabannamawulire.
Abakulu bano bonna nga tebeetemyeemu, bagambye nti abamu kubannamawulire baava kugwamawulire kati baafuka balwanirizi babannabyabufuzi.
Kinnajjukirwa nti sabiiti eno, olukiiko olutaba abasumba mu Ekelezia Katoliko olwa Uganda Episopal Conference nga luyita mu sssentebbe waalwo omusumba wa Kiyinda Mityana Dr Joseph Anthony Zziwa lwaalabula ebitongole ebikuuma ddembe okukomya ebikolwa byokukuba bannamawulire nga bakola emirimu gyaabwe.