Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akuutidde abantu bonna okufuba okuwa obudde ebyo byebaba basazeewo okutandika okukola bwebaba baagala biveemu amakulu.
Katikkiro bino abyogeredde ku ssomero lya St Kizito Kyamuliibwa Mugigi Primary school, bweribadde lijaguza emyaka 25 beddu kakyanga litandikibwawo.
Agambye nti eky’abantu okwagala eby’amangu ate nebatabiwa budde, biviiriddeko ebintu bingi ebitandikibwawo obutavaamu makungula gegasa, olwa bannyinibyo obutabiwa budde bumala.
Katikkiro asiimye abazadde abajjumbidde okutwala abaana mu masomero n’okutegeera obukulu bw’okusoma, n’agamba nti kiwa essuubi ku biseera by’omwana wamu n’eggwanga ebyomumaaso.
Wasooseewo okusaba okukulembeddwamu omusumba w’e Masaka Bishop Serverus Jjumba.
Minister ow’ebyenjigiriza mu bwakabaka Owek Cotilida Nakate Kikomeko, mu Bubaka bwatisse Owek Ronald Bbaale Mugera, asabye abazadde mu byalo okwettanira sikaala z’obwakabaka eziwebwa abayizi abagezi era abetaaga okubeerwa bayambibweko.
Minister omubeezi Ow’eby’amazzi mu government eya wakati Aisha Ssekindi, yebazizza eklezia olwokutandika amasomero ag’obwanannyini agatumbudde ebyenjigiriza, kyokka naasaba banabyabufuzi okukomya okuvumirira enkola ya bonna basome mu Primary (UPE) nti kubanga nayo eriko bejunye bangi..
Omubaka wa Kalungu West mu Parliament Ssewungu Gonzaga, alaze obwetaavu bwa gavumenti okwongera okutumbula ebyenjigiriza ng’eyongera ku mutemwa gw’ensimbi zeteeka mu bonna basome.
Naggayi Josephine mukulu we ssomero lino ategeezezza Katikkiro nti basimbye emmwanyi okwongera okugaziya ku nyingiza y’essomero era nga balina enteekateeka eyokuzimbira abasomesa ennyumba ku ssomero okukendeeza ku nsaasanya.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred ne Kato Denis