Ekisulo ky’abayizi abawala kikutte omuliro ebintu byonna nebibeengeya ku ssomero lya God cares Christian Primary School erisangibwa mu Kirinnya Cell Lukaya mu district ye Kalungu.
Omukulu w’essomero Maria Emma Namatovu agambye nti tebalina kintu kyonna kyebataasizza, wabula nga tewali muyizi yenna afunye buvune.
Omwogezi wa police mu kitundu ekyo Kasirye Twaha agambye nti bakyanoobyereza okuzuula ekivuddeko omuliro, era n’akubiriza abakulira amasomero okussaawo ebintu ebirwanyisa omuliro mu masomero.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru