Ebikujjuko by’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwe 67 byongezeddwayo.
Ebikujjuko bino mulimu olunaku lw’amazaalibwa ga Ssaabasajja olwa nga 13 April,2022, n’emisinde gy’amazaalibwa egibaawo buli sunday ekulembera olunaku lw’amazaalibwa.
Ku mulundi guno emisinde gyandibadde gyabaddewo nga 10 April,2022 ekitaasobose.
Ate ggo amazaalibwa gabadde gakubaawo ku lw’okusatu lwa wiiki eno nga 13 April,2022.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukungaana lw’amawulire n’asaba abantu b’omutanda okwongera okusabira Kabaka.
Agambye nti emisinde gisuubirwa okubaawo omwezi ogujja ogwa may, wabula olunaku terunasibwawo.
Katikkiro agambye nti Ssabasajja Kabaka akyali mitala wa mayanja ku mirimu emitongole.
Annyonyodde nti wabaddewo n’okusoomozebwa kw’emijoozi ejiddukibwamu okuba nti gyatuuse kikeerezi,nga mu kiseera kino gikyali mu kitongole ky’emisolo ki Uganda Revenue Authority.
Kampuni y’eesimj eya Airtel bebavujjirizi abakulu ab’emisinde gya Kabaka birthday-run.
Minister w’ebyemizannyo n’abavubuka Owek Henry Sekabembe Kiberu naye yetabye mu lukungaana lw’amawulire,Katikkiro Charles Peter Mayiga mwalangiriridde enkyukakyuka ezo.