Ebibuga ebyaasuumusibwa okuva ku mutendera gwa munisipaali okudda ku mutendera gwa Cities biri mu kassatiro olwe bula lye ensimbi kubanga gavument zeyabisuubiza okutambuza emirimu nga bitandiikawo nokutuusa olwaleero tebiziweebwanga.

Masaka, Jinja, Mbarara, Four Other Municipalities Come of Age, Begin City  Status - The Ugandan Wire

Ebibuga bino okuli Masaka, Mbarara, Hoima, Lira, Fortportal , Jinja, Soroti, Arua , Mbale ne Gulu gavument bweyaali ebisuumusa yabisuubiza okubiwa obuwumbi 100 nga entandiikwa okubiyambako okutambuza emirimu.

Ebibuga bino bwebyaali bisuumusibwa , gavument yagaziya ebitundu bino newabaako ebitundu ebirala ebyaayongerwaako okugezi ekibuga munisipaali ye Masaka kyaggattibwaako amagombolola okuli Kabonera, Mukungwe , Kalungu Rural nebitundu ebirala ebyaava ku district ye Lwengo nebibuga ebirala bwebityo.

Meeya wekibuga Masaka Godfrey Kayemba afaayo agambye nti ensimbi gavument zeyaali esuubiza okuwa ebibuga bino zaali zakuzimba enguudo, okugula ettaka okukolerako emirimu zebibuga, okuggulawo ebibangirizi byabannamakolero, nebirala wabula emyezi 3 bukyanga ebibuga bino bitandiika ensimbi zino tebizifunanga.

Facebook Comments Box

Be the first to comment

Leave a Reply