Ministry y’e byóbusuubuzi námakolero eyagala omusolo ogussibwa ku muceere okuyingira eggwanga gukendezebweko, kiyambeeko okukendeeza ku bbeeyi y’omuceere eyeyongera okwekanama mu Uganda.
Kiro yómukyeere mu bitundu by’e ggwanga ebitali bimu etuuse ku shs 8000, okuva ku shs 3500 kweyali omwaka 2022.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry ye byóbusuubuzi Geraldin Ssali agambye nti ensonga eno nga ministry bagenda kujanjula mu lukiiko lwaba minister lusalewo ekisaanye okukolebwa.
Geraldin Ssali agambye nti bamaze okubaga engeri enteekateeka eno gyerina okukwatibwamu, okwewala ate okuyiwa omuceere omungi mu Uganda ekiyinza okukosa abalimi n’abasuubuzi ba Uganda.
Kiteeberezebwa nti ebbeeyi y’omuceere okulinnya guvudde ku kuba nti omuceere ogulimwa mu Uganda gukyali mutono ziri ttani 238,000 ezirimibwa buli mwaka, so ng’ezeetaagisa okuliibwa ziri ttani 346,309.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif