• Latest
  • Trending
  • All

Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y’amagye agguddwako emisango 4 ne munne – nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira

November 20, 2024
Court  orders New Park Lockup Owners Association to compensate 2 traders billions of shillings 

Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150

August 17, 2026

NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi

August 17, 2026

Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

August 16, 2026
Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

August 15, 2026
Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu  1954 – 2026

Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

August 15, 2026
Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

August 14, 2026
Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa  ku kkomera e Kyegegwa

Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa ku kkomera e Kyegegwa

August 14, 2026
Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

August 14, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

August 13, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Omuyimbi Vinka ekiise embuga naayanjulira Katikkiro Mayiga ekivvulu kye – ekiriwo nga 21 August,2026 ku Cricket Oval

August 13, 2026
Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

August 13, 2026
CECAFA ekkiriza Rwanda okuddamu okutegeka empaka za CECAFA Kagame Cup emyaka emirala ebiri –  2027 ne 2028

CECAFA ekkiriza Rwanda okuddamu okutegeka empaka za CECAFA Kagame Cup emyaka emirala ebiri – 2027 ne 2028

August 13, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y’amagye agguddwako emisango 4 ne munne – nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira

by Namubiru Juliet
November 20, 2024
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Eyali president wa FDC nga kati y’omu ku bakulembeze b’ekiwayi kya Katonga road Rtd. Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y’amagye e  Makindye, naggulibwako emisango 4 gy’okugezaako okusekeeterera  government n’okutabangula emirembe.

Kiiza Besigye abadde yasemba okulabwako nga 16 November,2024 ng’agenze e Nairobi mu Kenya, okwetaba ku mukolo gw’okutongoza akatabo keeyaliko minister wa Kenya Martha Karua, wabula nabuzibwawo okumala ennaku 3 era ng’abadde tamanyiddwako mayitire.

Besigye aleeteddwa ne hajji Obed  Lutale omutuuze we Mutundwe mu kooti essaawa nga zikunukkiriza okuwera essaawa omusanvu ez’emisana ga 21 November,2024, nebasimbibwa mu maaso ga kooti eno ekulirwa Brig.Freeman Mugabe.

Besigye asabye akkirizibwe yewolereze nti kubanga abadde tanayogerako ne bannamateeka be okubabuulira ekyabaddewo, era n’agaana okumuwa bannamateeka ba government.

Brig.Mugabe asazeewo okuyimiriza kooti okumala ebbanga lya ddaakiika 15.

Kooti bwezzeemu okutuula wakati mu kooti ebadde ejjudde abawagizi be, ab’oluganda n’amagye,  Besigye ne munne basomeddwa emisango egyekuusa kukutabangula emirembe mu Uganda.

Omuwaabi wa kooti Raphael Mugisha agambye nti ababiri bano nga basinziira mu kibuga Geneva ekya Switzerland  ne mu Athens akya Greece wakati wa October 2023 ne November,2024 baatuuza enkiiko ez’enjawulo nga bagezaako okuperereza eby’okulwanyisa, era nti ne ku lunaku lwebaakwatibwa mu Riverside apartments nga 16 November,2024 mu kibuga Nairobi ekya Kenya baali ku mupango gwe gumu.

Bavunaaniddwa n’okusangibwa  n’emmundu ekika kya Pistol 2 ne magaziini z’amasasi 8, so nga eby’okulwanyisa birina kubeera na bakuuma ddembe.

Besigye ne munne emisango bagyegaanye, era ne munnamateeka wabwe Ssalongo Erias Lukwago n’asaba omulamuzi wa kooti y’amagye okugoba omusango guno nti tebalina musango gwonna gwebazizza mu Uganda, era nti obuyinza bwa kooti eno tebutuuka mu Kenya.

Lukwago agambye nti abantu be baayita mu makubo matuufu okuyingira e Kenya era ebiwandiiko biraga nti bakyali mu Kenya, n’olwekyo eky’okubawamba nebakomezebwawo mu Uganda nga tebayise mu makubo matuufu, kibeera kimenya mateeka.

Wano Lukwago wasabidde omulamuzi nti emisango egibagguddwak gigobebwe.

Wabula Omulamuzi abasindise ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 02 December,2024, lwebanadda mu kooti lwenasalawo ekiddako.

Kooti eno yeemu yali evunaanyeeko Rtd.Col.Dr. Kiiza Besigye mu mwaka 2006, lweyaggulwawo emisango 4 egyekuusa kukusekeeterera eggwanga, wabula oluvannyuma negigobwa.

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150
  • NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi
  • Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1
  • Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist