Omukulembeze w’ekisinde ky’ebyobufuzi ekya Peoples Front For Transition Rtd Col Dr.Kiiza Besigye Kifeefe agugumbudde abakulu mu bibiina by’bufuzi ebivuganya government nti singa tebakomya kunenengana,tebagenda kukyuusa ggwanga lino.
Besigye abadde ku kitebe kya FDC ekisangibwa ku Katonga Road mu Kampala ,ebibiina ebivuganya bannabibiina ebivuganya government bwebabadde bakungaanye okukuba eriiso evanyuma ku mugenzi Sarah Eperu eyavudde mu bulamu bw’ensi.
Besigye agambye nti akaseera katuuse entalo zive muludda oluvuganya government bakolere wamu bwebaba bakutwala eggwanga lino munsi ensuubize.
Mungeri yeemu Besigye atabukidde abamu ku banna kibiina kya FDC ababadde babbye omulambo gw’omugenzi Sarah Eperu nga bagala kugukolerako byabufuzi agambye nti kino sikyabugunjufu nti singa babadde bamwagala bandimuwadde obujanjabi nga mulamu.
Omukulembeze w’ekibiina kya FDC ekituula ku Katonga road Ssalongo Erias Lukwago ,awadde amagezi eri banna byabufuzi abavuganya government nti batandiike okukolaganira awamu balabe nga basasula omugenzi kyabadde alwaana okutuukako ekyokuleeta enkyukakyuuka mu Uganda.
Kaminsona wa Parliament munna kibiina kya NUP Owek Mathius Mpuuga Nsamba agambye nti entalo mu ludda oluvuganya government zisusse nga bino balibitadde ku nkondo basooke balwane olutalo olw’okukyuusa eggwanga, entalo z’abantu balizikolako nga eggwanga likyuuse
Ate ye omukulembeze wa CP Kenny Lukyamuzi awabudde oludda oluvuganya lutandike buto okuddamu okwenyweza lubeere n’amaanyi agasobola okukyuusa Uganda eyawamu
Bisakiddwa: Lukenge Sharif