Munna kibiina kya FDC Rtd Col Kizza Besigye azzeemu okuzira emmere mu komera e Luzira, awakanya eky’okumukuumira mu kkomera nti mu bumenyi bw’amateeka.
Besigye abadde asisinkanyeemu bannamateeka be n’ategeeza nti bweba nga kooti y’amagye yayimiriziddwa obutaddamu kuwozesa bantu ba bulijjo, nti tewaba nsonga ekyamukuumira mu kkomera, ayagala ayimbulwe.
Banna mateeka ba Besigye nga bakulembeddwamu Martha Karua ne lordmayor Ssalongo Erias Lukwago bakedde ku ofiisi ya ssaabalamuzi w’eggwanga okumutwalira ekiwandiiko ekiraga nti ebyasalibwawo kooti ensukulumu, tewali nakimu kyateekeddwa mu nkola byonna byasigadde mu bigambo.
Bagenze ne mu kooti enkulu okugisaba eragire, Besigye ne munne bayimbulwe.
Mukyala wa Dr.Besigye nga ye Winnie Byanyima naye addukidde mu kooti ng’ayagala eragire Ssaabawolereza wa government n’akulira amakomera okuyimbula bba ne munne Haji Obeid Lutale.
Byanyima ategeezezza Kooti nti ababiri bano mu kooti bakuumibwayo mu bumenyi bw’amateeka, ekirinnyirira eddembe lyabwe.
Besigye ne Lutale baali bakudda mu kooti y’amagye nga 03 February,2025 gyebavunaabibwa emisango gy’okusangibwa n’emmundu bwebaali bakwatibwa e Kenya, n’emisango emirala egy’okutuuza enkiiko ezigenderera okusekeeterera government ya Uganda, wabula nekitasoboka.
Kyava ku nnamula ya kooti ensukkulumu eya nga 30 January,2025, eyalambika nti kimenya mateeka kooti y’amagye okuwozesa abantu ba bulijjo, era negiragira fayiro z’emisango gyonna egivunaanibwa abantu ba bulijjo zitwalibwe mu kooti eza bulijjo, zitandike okugiwulira.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif