Ddereeva wa mmotoka eyali ayagala okutomera omuserikale wa police y’ebidduka, asingisiddwa omusango n’asalirwa engassi ya mitwalo gya shilling 600,000/= oba okusibwa mu kkomera emyezi mukaaga.
Omulamuzi omukulu owa kkooti ento ku Buganda Road Ronald Kayizzi yasalidde Isaac Mukwaya ekibonerezo oluvannyuma lw’okukkiriza omusango gw’okuvuga mmotoka n’ekimama.
Omulamuzi bw’abadde asalira Mukwaya ekibonerezo agambye nti singa anaalemerwa okusasula engassi ey’emitwalo 600,000/= agenda kusibwa emyezi mukaaga.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze lugambye nti nga 12 June, 2023 ku Parking Yard ya kampuni ya Lyca Mobile mu Kampala, Mukwaya yavuga mmotoka nnamba UAZ 515C Subaru ku luguudo nga tafuddeyo ku bakozesa oluguudo balala.
Ekiwandiiko mu kkooti biraga nti Mukwaya yalemererwa okuyimirira ng’omuserikale wa police amuyimirizza oluvannyuma lw’okugezaako okukoona omuserikale wa police ku Kitgum House ku luguudo lwa Jinja Road.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












