Ministry y’eby’obulamu eragidde amasomero, n’abasawo abagenda okuyambako mu kugemesa abaana wakati w’emyaka 12-17 mu masomero, obutakaka kugema abaana nga tebasoose kufuna lukusa lwabazadde babwe.
Amasomero by’ebimu ku bifo ebyanokoddwayo nti biri mu bulabe bw’okusaasanya ekirwadde kino, ssinga abaana nabasomesa tebajjumbira kwegemesa.
Dr Henry Mwebesa, akulira ebyobujjanjabi mu ministry y’ebyobulamu, mu bubakabwe eri amasomero nabasawo abayambako mu kawefube ono, agambye nti tewali mwana agenda kugemebwa ssinga muzaddewe takkiriza ku mugema.
Bino bijjidde mu kiseera nga ministry yakalangirira nti covid azeemu okusaasaana ku misinde emingi.
Ebiva mu alipoota y’abantu 2,675 abaakeberebwa covid 19 nga 08 June,2022, kulaze nti abantu 119 bebaazuulibwa n’obulwadde mu lunaku lumu, nga guno gwegukyasinze obunene mu kiseera kino.
Abantu 6 basindikiddwa mu malwaliro okwongera okufuna obujjanjabi.
Werutukidde leero nga abakazuulibwamu Covid 19, baweze emitwalo 166,046 sso ng’abakajjanjabibwa nebawona bali emitwalo 100,385,abakafa bali 3,600 okuva mu March wa 2020.
Emmanuel Ainebyona, ayogerera ministry y’eby’obulamu agamba nti banna Uganda basanidde okudamu okwetangira ekirwadde kino kuba bangi ebiragiro tebakyabigoberera.
Mulimu okunaaba mu ngalo buli kadde,okwambala mask, okudduka mu malwaliro nga bafunye obubonero bwa ssenyiga n’ebirala.
Bisakiddwa :Ddungu Davis