CBS Pewosa Toto etongozeddwa mu Ssaza Buddu egendereddwamu okwagaziza abaana abato nabo okutereka ku nsimbi zebafuna nga bwekiri kubantu abakulu.
Enteekateeka eno etandikiddde mu masomero 3 okuli Masaka Parents Konoweeka Nursery and Primary School , St Pauline Nyendo Mukudde, ne New standard p/s erisangibwa mu district ye Lwengo.
Akulira oludda oluwabula government mu parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba enteekateeka eno agitongolezza mu mwoleso gwa Cbs Pewosa ogubumbujjira ku mbuga ya Pokino mu kibuga Masaka.
Mpuuga agambye nti kyabulabe abaana abato okubayigiriza okulya emmeere kyokka n’otabatendeka ebintu byebayina okukola okusobola okwebezaawo.
Omusumba Wessaza Lye Masaka Rt Rev Serverus Jjumba agambye nti etekateeka etongozeddwa yakuyamba egwanga abaana okuyiga nga basobola okweterekera ku nsimbi ate n’okubaako obulimu bwebakola naddala egy’obulimi.
Omulangira David Kintu Wasajja naye alambudde omwoleso, era asabye banna Buddu okuzaawo ekitiibwa kya Buddu nga bazaawo emmwaanyi n’ensuku ezigudde akaleka.
Omulangira David Kintu Wasajja era asiimye Cbs olw’okwolesebwa netandikawo enkola y’okweterekera eyavaamu omwoleso guno oguyambye okuggyayo obuyiiya bw’abantu ba Kabaka.
Ssenkulu wa CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe ategezezza nti kino ekikoleddwa mu ssza Buddu kyakuyamba okuteekateeka abaana ku bikwatagana n’ensimbi nga bakyali bato.mera akalaatidde abazadde nabasomesa okwegatta ku cbs pewosa.
Omwoleso gwa CBS Pewosa mu Buddu ogw’omulundi ogwo 2 gutambulira ku mulamwa gw’okuzaawo ensuku okusobola okulwanyisa enjala n’obwavu.
Bisakiddwa: Kaleebu Henry ne Wasajja Mahad