• Latest
  • Trending
  • All

CBS@ 27 : 1996 – 2023

June 22, 2023
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Maama n’abaana be 2 bafiiridde mu kabenje ka bodaboda e Iganga

June 16, 2025
Embalirira ya Buganda eya 2025/2026 – essira liteekeddwa ku bavubuka

Embalirira ya Buganda eya 2025/2026 – essira liteekeddwa ku bavubuka

June 16, 2025
Okulonda obukiiko bw’abakadde ku byalo kwa ggwanga lyonna

Okulonda obukiiko bw’abakadde ku byalo kwa ggwanga lyonna

June 16, 2025
Empaka z’Amasaza 2025 : Amasaza 3 gatongozza ttiimu zaago nga gazannyamu omupiira ogw’omukwano

Empaka z’Amasaza 2025 : Amasaza 3 gatongozza ttiimu zaago nga gazannyamu omupiira ogw’omukwano

June 15, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Emmotoka ya Sinotruck eyiingiridde emmotoka eziwerekera omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa – abantu 6 balumiziddwa

June 14, 2025
President Museveni asisinkanyemu omubaka wa German mu Uganda Matthias Schauer – baliko ensonga zebakkaanyizaako

President Museveni asisinkanyemu omubaka wa German mu Uganda Matthias Schauer – baliko ensonga zebakkaanyizaako

June 14, 2025
Nambaziira Joan okuva mu ssaza Buluuli awangudde empaka za bannalulungi ba Buganda ab’ebyobulambuzi eza 2025

Nambaziira Joan okuva mu ssaza Buluuli awangudde empaka za bannalulungi ba Buganda ab’ebyobulambuzi eza 2025

June 14, 2025
Shamirah Nabadda alondeddwa okulamula ogwa Women Africa Cup of Nations 2025

Shamirah Nabadda alondeddwa okulamula ogwa Women Africa Cup of Nations 2025

June 13, 2025
Bannakatemba bajjukidde omugenzi  Kato Lubwama – awezezza emyaka 2 bukyanga afa

Bannakatemba bajjukidde omugenzi Kato Lubwama – awezezza emyaka 2 bukyanga afa

June 13, 2025
President Museveni alagidde ebitongole bya Government okussa essira kukunoonyeza eby’amaguzi bya Uganda obutale

President Museveni alagidde ebitongole bya Government okussa essira kukunoonyeza eby’amaguzi bya Uganda obutale

June 13, 2025
Katikkiro Mayiga atongozza omwaka A ogwa Mmwaanyi Terimba  2025/2026

Katikkiro Mayiga atongozza omwaka A ogwa Mmwaanyi Terimba 2025/2026

June 13, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Amasannyalaze gakubye 5 e Kansanga – omu afiiriddewo

June 13, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

CBS@ 27 : 1996 – 2023

by Namubiru Juliet
June 22, 2023
in Amawulire, BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
298
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ennaku z’omwezi zaali 22 June, 1996 CBS Fm neeyingira amayengo ga Radio, ng’eyita ku mukutu ogwa 88.8.

Ssaabasajja Kabaka bweyali aggulawo studio za CBS FM ku kizimbe Masengere mu 2018 ku mazaalibwa gaayo aga 22

Ssaabasajja Kabaka yasiima radio eno etandikibwewo libeere eddoboozi erigatta abantube mu Uganda n’ebweru waayo.

Ssenkulu wa CBS eyasookera ddala Rev. Dan Kajumba agamba nti kaali kaseera kakeetalo okutekeesa ekiragiro kya maasomoogi eky’okutandikawo CBS.

Agambye nti buli muntu yakola ekyetaagisa okulaba nga laadiyo eno egenda ku mpewo.

Kati emyaka 27 beddu ebigenderwa byayo ebyagitandisa bingi birabwako.

Mu bbanga lino etandiseewo program n’enteekateeka nnyingi ezikulakulanyizza banna Uganda omutali kusosola bantu   omuli Entanda ya Buganda , Akazannyo ka Cbs Bingwa , Cbs Pewosa wamu n’okuwagira eby’emizannyo naddala empaka z’amasaza n’ebika.

Akulira eby’emirimu mu  CBS Omuk Robert Kasozi agamba nti ng’abakulembeze ba CBS bamativu nti Radio eno  omulimu ogwagitandisaawo egutuukirizza, era yeyamye nti CBS yakwongera okutuusa eddoboozi lya Ssabasajja mu bantu be.

Ensibuko y’ekirowoozo ekyazaala CBS

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi bwe yatuuzibwa   ku Nnamulondo  ku  kasozi Nnaggalabi Buddo mu 1993 Obuganda bwabuutikirwa  ennyonta ey’okumanyanga amawulire agafa embuga, anti ng’olwo abadde Ssaabataka afuuse Kabaka era nga alina okutandika okulamula Obuganda nga Kabaka.

Mu kulamula Obuganda Omutanda yalina okumanyisa abantu be ebintu ebitali bimu mu bwakabaka bwe, okubawa ennambika eneetambuza Obuganda, okufuna amawulire okuva mu bitundu by’obwakabaka byonna, okuwa abantu be amawulire ag’enkulaakulana, okubakubiriza okunyweza ennono, obuwangwa, wamu na buli mawulire gonna agatwala Obuganda mu maaso.

Omutanda yalina okulambula Obuganda, okusisinkana abantu be, okubakumaakuma, okubalambika mu nkola y’emirimu kyokka nga bino okunnyikira obulungi mu bantu be waalina okubaawo eddoboozi eritegeeza abantu ba beene ku bino byonna.

Amawulire agafa embuga geeyongera anti nga obwakabaka bulina ebintu eby’enjawulo bye bukola ebyali biteekeddwa okubunyisibwa mu Buganda yonna, wamu ne mu mawanga agatali gamu agalimu abantu Beene abaali beetaaga okumanya ebifa eka.

Mu budde obwo kyali kizibu nnyo amawulire gano okufulumizibwa nga bwe kyali kyetaagisa anti nga obwakabaka tebwalina mukutu gwa mpuliziganya yali esobola kufulumya mawulire gafa mbuga mu bujjuvu, okuggyako okugumira egyo emikutu egyaliwo, okuwaayo akaagaanya akasaamusaamu bafulumyeeko ebyo bye baalabanga nga bigya mu budde bwe baalinanga.

Ennyonta eno eyookumanya ebifa embuga, okubibunya Obuganda bwonna yayingira mu mitima gy’Abantu ba Beene, era ekirowoozo ne kireetebwa nga kya kussaawo Laadiyo eyambe mu kubunyisa amawulire gano.

Mu ngeri yeemu waaliwo obwetaavu bwokukumaakuma Obuganda okwenyigira mu bintu ebitali bimu gamba ng’okuzza engulu ebintu bya Buganda ebitali bimu, nga muno mwe mwali enkola ya Bulungi bwa nsi, okuddaabiriza embiri, okulongoosa Twekobe, okuzzaawo olusuku lwa Nnaabagereka, Ssaabasajja okulambula Obuganda, okumanyisa Obuganda amawulire agafa embuga, byonna nga birna okufunirwa w’ebiyitira okutuuka ku bantu ba Beene.

Mu budde obwo eyali katikkiro wa Buganda Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere agamba nti engeri gye waaliwo omukutu gw’eby’empuliziganya gumu omunene yaweebwa akaagaanya agende ayogere ku nsonga za Buganda era yakikola bulungi.

Olw’obudde obutono obwamuweebwa ensonga tezaggwayo era yasaba ayongerweyo obudde agguse ensonga ze yali alese mu kkubo.

Olunaku lwamuweebwa wamu n’obudde addeyo agguse ensonga.

Agamba nti yayanguwa okutuuka gye yali agenda okusinziira okuggusa ensonga ze yalina okuggusa, naye ekyamuggya enviiri ku mutwe bwe mutamukkiriza kwogera nga bwe yali ayitiddwa.

Mulwannyammuli Annyonnyola nti yakonkomalira mu kifo ekyo ne banne be yali agenze nabo okutuusa obudde lwe baalaba nga buyise, ne basalawo okuvaayo nga tebategedde nsonga yonna ebagaanyisizza kwogera so nga baali baasaba obudde era ne bakkirizibwa.

Agamba nti ekikolwa kino kyakola nga omubumbirano gw’okutandika okuzimba ekirowoozo ky’okutandikawo laadiyo ya Buganda eteebeko kwegayirira na kumala kusaba okuyisaako amawulire agafa embuga.

Ekirowoozo kino kyatandika mpola nga omukka oguva mu kikoomi oluvannyuma ne kikoleera nga oluyiira  nga 22.06.1996 nga nookutuusa kati lukyayaka.

Yogaayoga CBS!

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Maama n’abaana be 2 bafiiridde mu kabenje ka bodaboda e Iganga
  • Embalirira ya Buganda eya 2025/2026 – essira liteekeddwa ku bavubuka
  • Okulonda obukiiko bw’abakadde ku byalo kwa ggwanga lyonna
  • Empaka z’Amasaza 2025 : Amasaza 3 gatongozza ttiimu zaago nga gazannyamu omupiira ogw’omukwano
  • Emmotoka ya Sinotruck eyiingiridde emmotoka eziwerekera omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa – abantu 6 balumiziddwa

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist