Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwémisinde munsi yonna kirangiridde nti bukyanga lubanga lwa mindi, ku mulundi guno abaddusi mu mpaka za Olympics ezigenda okubeera mu kibuga Paris ekya Bufalansa omwaka guno 2024...
Jjajja w'obusiramu Omulangira Dr. Khassim Nakibinge Kakungulu asabye government ya Uganda okukomya okusasaanya ensimbi z'omuwi w'omusolo ku bintu ebitatwala Uganda mu maaso, ekituuse n'okwongeza omusolo eri bannansi abamu ne batuuka...
Abantu ba Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka beyiye mu bungi mu lubiri e Mengo wakati mu nkuba ekedde okutonnya, okwetaba mu misinde gy'Amazaalibwa ga Kabaka egy'omwaka 2024. Abaddusi bonna okuli abadduse kilometre...
Amataba gazeemu okukosa district ye Bulambuli ne Butalejja, amasomero agamu gagaddwa, amayumba g'abatuuze n'emmere byonooneddwa, saako enguudo ezisaliddwako amataba. Ssentebe wa district ye Butaleja Michael Higenyi agambye nti basazeewo okugira...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okweyambisa emyaka gy'obuvubuka nga bakola ebikulaakukanya Obwakabaka omuli okukulemberamu omulimu gw'Okutaasa Namulondo. Abadde ayogerako eri abayizi abavudde ku Makerere University abakiise mu...
Abatuuze mu kabuga ke Kawoko mugombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi balwanaganye n'abazigu ababbisa emmundu, bagibasuuzizza ng'erimu amasasi agawerako. Ensitaano ey'amaanyi ebadde wa Mutuuze Mutyaba Bonny okulinaana akamu ku...
Government kyaddaaki etongozza Okukola enguudo okuli Kisubi –Nakawuka-Nateete, Nakawuka – Kasanje –Mpigi, Nakawuka – Mawuugulu-Nanziga-Maya, Kasanje –Buwaya ne Ntebbe- Nakiwogo mu district ye Wakiso. Enguudo zino nga ziwezaako obuwanvu bwa...
Akakiiko ka parliament akakuba tooci mu bantu ababeera balondeddwa omukulembeze wéggwanga kasunsudde ba minister abaggya, era bonna bakakasiddwa. Gen. Wilson Mbasu Mbadi minister omubeezi owóbusuubuzi,...