Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kikakasizza eyaliko nakinku mu kucanga endiba ku ttiimu ya Uganda Cranes, Hassan Wasswa Mawanda, ng'omu ku bagenda okukulemberamu okukwata obululu obw'ebibinja obw'empaka...
Empaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere zongedde okuvaamu ebibala, club ya Vipers eya Uganda Premier League eri mu nteekateeka ezisembayo okukansa omuwuwutanyi Amour Munogera okutandika okubacangira endiba. Amour Munogera...
Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kizzeemu okutalaaga Kenya, Tanzania ne Uganda mu kwekenenya okusembayo okwekenneenya amawanga gonsatule bwegetegese, okutegeka empaka za African Nations Championships CHAN ez’omwaka...
President wékibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Ssalongo Eng. Moses Magogo, akakasiza nti FUFA etandise okunonyereza ku mupiira ogwazanyibwa wakati wa club ya Kitara ne Express mu Uganda Premier...
Omukomonsi wa firimbi ku mutendera gw'ensi yonna munnauganda Ali Sabila Chelangat, mu butongole alangiridde nga bwanyuse omulimu guno mbagirawo. Ali Sabila Chelangat okuwumula kwe kudiridde ekibiina ekiddukanya omupiira...
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey'abazannyi abatasussa myaka 17 eya Uganda Cubs, esitukidde mu kikopo ky’empaka za Africa Cup of Nations U17 CECAFA Zonal Qualifiers ezibadde ziyindira mu Uganda. Uganda...
Omulimu gw’okuddabiriza ekisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku gutandikiddwako, nga ebimu ku bisaawe ebigenda okukozesebwa nga Uganda ekyazizza empaka za African Nations Championships CHAN. Empaka za CHAN zigenda kutegekebwa...