Ttiimu ya Uganda ey’omuzannyo gw’ensero ey’abakazi eya The Gazelles, yesozze oluzannya olw’akamalirizo olw’empaka za FIBA Women’s Afro Basket Zone V Qualifiers eziyindira mu kibuga Cairo ekya Misiri.
Uganda Gazelles okutuuka ku final ekubye bamulirwana aba Burundi obugoba 66 ku 30, nga empaka zino ziyindira mu kisaawe kya Hassan Moustapha Sports Hall e Cairo.
Abazannyi abalaze omutindo ku ttiimu ya Gazelles ye Jane Nansikombi atebyeko obugoba 14, Melisa Akullu obugoba 12 ne Paige Robinson obugoba 10.
Uganda Gazelles eddako kuzannya abategesi aba Misiri omupiira ogw’akamalirizo.
Misiri okutuuka ku final ekubye South Sudan obugoba 85 ku 64.
Mu mpaka zino Uganda yasooka kukuba Kenya obugoba 78 ku 56, Misiri yakuba Uganda obugoba 65 ku 62, Uganda neekuba South Sudan obugoba 83 ku 69.
Omuwanguzi wakati wa Uganda ne Misiri yajja okukiika mu mpaka ez’akamalirizo eza FIBA Women’s Afro Basket Championship ez’akamalirizo ezinabeera mu Abidjan Ivory Coast omwaka guno 2025.
Uganda yakakiika mu mpaka ez’akamalirizo emirundi 3, nga yasooka mu 1997, 2015 ne 2023, nga kati erwana kukiika mulundi gwakuna.
Omutendesi wa Uganda Gazelles Nicholas Natuhereza yatwala ttiimu yabazannyi 12 okukiikirira Uganda mu mpaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe