Akakiiko kebyokulonda aka Uganda Electoral Commission nabebyokwerinda mu Gombolola ye Kawempe baweze bannabyabufuzi okuyisa ebivvulu ku nguudo, nga bagenda okwewandiisa okuvuganya ku kifo ly'omubaka wa Kawempe North nebwebanaaba bamalirizza. Okwewandiisa...
Abatuuze abawangalira ku mwalo gwe Bugiri mu town council ye Katabi mu district ye Wakiso bawanjagidde government ng'eyita mu ministry y'ebyobulamu okubateerawo eddwaliro mu kitundu, okubataasa okutindigga olugendo olusuka kirometer...
Munnabyabufuzi era munnamagye eyagannyuka Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya baziddwayo mu kkomera, oluvannyuma lw'omulamuzi wa kooti enkulu Douglas Singiza okutegeeza nti abadde tayinza kuwozesa muntu mulwadde nga Besigye bw'abadde. Omulamuzi...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alumiriza munnabyabufuzi Rtd. Col. Dr Kiiza Besigye okwekandagga nagaana okulya emmere, nti nekigendererwa eky'okudyekadyeka abantu bamukwatire ekisa, bave ku ky'emisango gya naggomola egimuvunaanibwa. Museveni...
Emikolo gy'okukuza olunaku lw'eyali Ssaabalabirizi Janani Luwumu gigenda mu maaso, ku kyalo Wii- Gweng Mucwini mu district ye Kitgum. Government ya NRM yasaawo olwa 16 February,buli mwaka okujjuukirirako Ssaabalabirizi Janani...
Police okuva e Kakiri ewaliriziddwa okuyimiriza olukungaana wamu n'enteekateeka zabavubuka bannakibiina kya National Unity platform ababadde bakungaanidde ku New Eden Guest House mu musomo ogw'okweteegekera akalulu k'abavubuka akanaatera okubeerawo. Kivudde bawagizi...
Police mu bitundu bye Busoga eggalidde Bashir Waiswa wa myaka 59 egy’obukulu, ku bigambibwa nti abadde ateekateeka okukola obuyeekera ku government ya Uganda. Police egamba nti omukwate abadde aliko...
Obwakabaka bwa Buganda bukubyekubye ku babaka ba parliament naddala abava mu Buganda okulwana amasajja okulaba nti ebyambalo okuli ggomesi ne Kanzu birekebwa ku lukalala lw'engoye ezikkirizibwa okwambalwa mu parliament ya...