Ministry y'eby'obulamu egumizza bannauganda nti akawuka ka covid 19 akakeeyubula akaatuumiddwa Omicron nti tekanatuuka mu Uganda, wabula nti abantu balina okujjumbira okwegemesa, nti kubanga eddagala eryo sisobola bulungi okukakendeeza amaanyi...
Ekitongole ky'ensi yonna eky'ebyobulamu ki World Health Organisation WHO kituumye akawuka ka Corona Virus akapya "Omicron soma Omikuloni". WHO egamba nti kano akaasookedde mu nsi ya South Africa kakambwe nnyo...
Mu bifaananyi abalwadde nga basimbye ennyiriri mu ddwaliro lya kisenyi mu Kampala Bya Davis Ddungu Emirimu jisangaladde mu malwaliro ga gavumenti enkya ya leero, abasawo mu kibiina ekibata ekya Uganda...
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museven agambye nti siwakukkiriza bayeekera ba ADF okutabangula eggwanga era nalabula nti abanerema okwewaayo mu mirembe, abeby'okwerinda olunabakwata sibakubattira ku liiso. Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museven...