Bya Davis Ddungu
Emirimu jisangaladde mu malwaliro ga gavumenti enkya ya leero, abasawo mu kibiina ekibata ekya Uganda medical association (UMA), bwebatandise akeedimo kaabwe ak’okuteeka wansi ebikola.
Akediimo kábasawo kaatandise ku ssaawa mukaaga mu kiro ekikeesezza leero, oluvanyuma gavumenti okulemererwa okuteekesa mu nkola obweyamo bwayo obwokubasasula omusaala ogwaakanyizibwako.
Abasawo baategezezza nti bamaze ebbanga nga boogereganya ne gavumenti ku nsonga ezenjawulo wabula tebayambiddwa.
Bano era beemulugunya nekumuwendo gwebikozesebwa ebitono ebisibwa mu malwaliro ga gavumenti byebagamba nti bibalemesa okutuusa obuweereza obusaanidde ku balwadde nókuteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Cbs mu malwaliro gekeddemu okuli erya Mengo Kisenyi eriddukanyizibwa ekitongole kya Kampala Capital City Authority, nga lyamutendera gwa Health Center IV nerye Kawaala, abalwadde basangiddwa bakonkomadde nga tebalina abakolako.
Newankubade ministry y’eby’obulamu okuyita mu mwogezi waayo, Emmanuel Ainebyona, baabadde basabye abasawo obutediima, naye okusaba kuno tekwavuddemu kalungi.
Abalwadde naddala abava ewaka, abamanyiddwa nga Out patient, abaagala okugemebwa Covid 19, abalwadde b’omusujja gw’ensiri, abakyala abazaala nabalala bebasinze okukosebwa. Yo ward ewajjanjabirwa n’okubudabuda abalina mukenenya naakafuba zzo zibadde tezinakosebwa cbs weeviridde mu malwaliro gano.
Wabula abasawo nga bakulembeddwamu Dr Odongo Samuel Oledo president w’ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda Medical association bagamba nti abakulu mu ministry bazze babayita okubaako ensonga zebakkaanyaako nga buteerere.
Bawadde ekyókulabirako nti bannabwe abasawo abasoba mu 80 bebaakoseddwa ekirwadde kya Covid 19 nga bali ku mirimu, kyokka tewali wadde okuyambibwa okubawebwa wadde okuliyirira abénganda zabwe eri abo abaafa ekirwadde kino.
Dr Oledo ne Dr Luswata, bagamba nti amalwaliro mangi tegalina basawo bamala, so nga waliwo abasawo abakugu abawera 1,113 abatalina mirimu, ate nga basuubira omuwendo guno okulinnya okutuuka ku basawo 1,900.
Ekibiina ekitaba abasawo mu Uganda ekya Uganda Medical Association kirimu abasawo 7,000 era bano beegasse ku basawo abasoba mu 1,000 abakyali mu kugezesebwa abamaze sabiiti bbiri nga nabo bali mu keediimo.
Akediimo akengeri eno kaali kasemba okubaawo mu November wa 2017, abasawo baali bagala bongezebwe omusaala, wakiri okutuuka ku bukadde butaano eri omusawo omukugu asookerwako, nábakyagezesebwa abamanyiddwa nga ba yintaani batuuke ku bukadde bubiri nékitundu. Wabula nókutuuka kati tewali kyatuukiriziddwa nga ministry yébyóbulamu egamba nti ensimbi ezisinga zibadde zassibwa kukulwanyisa nókujanjaba covid 19.