Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’asimbula emisinde gy’amazaalibwa ge ag’omwaka 2021 ng’asinziira mu Lubiri lwe olw’e Mengo ewakungaanidde abantu abatonotono okwewala okusaasaanya covid 19, abasinga baddukidde mu bitundu byabwe.
So nga waliwo n’abamu abakunganye okwetoloola olubiri.
Omuteregga mu Lubiri lwe olwe mengo atuseewo ku saawa emu n’ekitundu, era ebibadde bigenda mu maaso mu lubiri bibadde biweerezebwa butereevu ku cbs fm radio, emikutu gya cbs egya social media ne BBS terefayina.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Nnyinimu olw’emisinde gino,egigendereddwamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Mu ngeri y’emu Katikkiro yebaziza Nnyinimu olwokulwanyisa ekirwadde kya covid 19 nga yegemesa, n’ abeera ekyokulabirako era nategeza nti welutuukidde leero nga abantu be bangi bajjumbidde okwegemesa covid 19.
Mu bizinga e Ssese, abantu ba Ssabasajja Kabaka babukeezezza nkokola ku bitebe by’amagombolola omusanvu agakola essaza Ssese gyebasimbudde mu misinde gino.
Emisinde gisimbuddwa Kweba Augustine Kasirye okuva ku Kitebe ky’essaza e Kalangala nga abantu badduse okwetooloola egombolola y’omukulu w’ekibuga Kalangala.
bantu ba Ssabasajja mu Ssaza lye Mbale ,Bugisu ne Bukedi nabo bakedde mu misinde gy’amazaalibwa g’Empologoma, era atwaala essaza lino Owek Nsubuga Rashid agambye gitumbudde nnyo obumu mu Bantu ba Beene ababeera mu bitundu ebyo.
N’ebitundu ebirala abantu bajjumbidde emisinde gino.
Amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka gaakuzibwa nga 13.04.2021, wabula olw’ekirwadde kya Covid 19 ekyali kisaasaanira ku misinde emingi tegyasobola kubeerawo kwolwo, kwekutegekebwa olwa leero nga kikendeddemu nga n’abantu abawera begemezza.