Ministry y’eby’obulamu egumizza bannauganda nti akawuka ka covid 19 akakeeyubula akaatuumiddwa Omicron nti tekanatuuka mu Uganda, wabula nti abantu balina okujjumbira okwegemesa, nti kubanga eddagala eryo sisobola bulungi okukakendeeza amaanyi singa omuntu abeera mugeme.
Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwa bannamawulire ku Media Center mu Kampala, minister w’eby’ebulamu Dr Jane Ruth Aceng, akakasizza, nti akawuka kano Omicron tebanakalabako mu Uganda, n’avumirira abantu abasaasaanya amawulire ag’obulumba nti Omicron katuuse mu Uganda, gagambye nti gagenderera kuteeka bantu ku bunkenke obutetaagisa.
Akawuka ka omicron, kasoose kulabwako mu South Africa, Botswana, Belgium ne Hong Kong, era ensi ezimu zaatandise okukugira abantu abava mu nsi ezo gyekaazuuliddwa.
Dr. Jane Ruth Aceng, agambye nti banna Uganda balina okwongera okuba obwerinde kukirwadde kino, era nti nga gavumenti amaanyi gateereddwa ku kujjumbira kukebeza abantu ku nsalo ez’enjawulo n’okugema.
Agambye nti bannaUganda, omuwendo ogwakajjumbira okugemebwa gukyali mutono kwogwo ogwetaagibwa ogwobukadde 22 okubaako yaddeyaddeko, ssonga okugema lyerimu ku kkubo erigenda okutangira okusaasana kw’ekirwadde.
Mu kiseera kino abanoonyereza ku nkula y’akawuka ka Omicron mu kitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu ku World Health Organisation, bagamba nti bakyetegereza okuzuula ensaasaana y’akawuka kano okuva ku muntu omu okudda ku mulala bw’ogerageranya n’ebika by’obuwuka bwa covid 19 obulala ng’akayitibwa Delta.
Ebyakazuuka biraga nti obubonero bwa Omicron bwekateeka ku muntu tebwawukana nnyo n’ebika ebirala ebya covid 19 ebibaddewo.