Ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ki World Health Organisation WHO kituumye akawuka ka Corona Virus akapya “Omicron soma Omikuloni”.
WHO egamba nti kano akaasookedde mu nsi ya South Africa kakambwe nnyo okukira obwasooka.
Ekitongole kino kiri mu kaweefube wa kwekeneenya kawuka kano era kiwabudde ensi nti newankubadde zigwanidde okwegendereza ennyo ka Covid kano akapya tezandipapye kuziyiza bantu baazo kugenda South Africa n’ensi eziriranyewo.
Ensi nyingi okuli Bungereza, America, Germany, Israel ne Italy zayimirizza ennyonyi zaazo okugenda mu bendobeendo eryo okwewala okutambuza ka Covid kano.
Mu September w’omwaka guno president wa South Africa Cyril Ramaphosa yaggulawo omuggalo newankubadde abagemeddwa Covid bakyali batono ddala.
Ezimu ku mbala za Covid mulimu Alpha eyatandikire e Bungereza, Beta nga nayo yatandikira South Africa, Gamma eya Brazil, Delta eya India n’eno empya Omicron eyatandikidde e South Africa.