Uganda buli mwaka efiirwa obuwumbi bwa shilling za 150 mu kujanjaba endwadde eziva ku butabeera na kabuyonjo, ng’abantu basaasanya embitambi buli webasanze ekiretera endwadde eziva ku buligo okweyongera naddala ekiddukano ky’omusaayi.
Olunaku lwa leero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku birungi by’okukozesa kabuyonjo okulwanyisa endwadde n’okutumbula obuyonjo.
Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ekinoonyereza ku mbeera z’abantu ki Community Integrated Development Initiative CIDI kulaze nti mu Kampala ne Wakiso abantu ebitundu 64% tebalina kabuyonjo zisaanidde, ekiviiriddeko abantu okusaasaanya embitambi neggweera mu nzizi omuva amazzi abantu gebakozesa mu maka.
Okunoonyereza kwe kumu kulaze nti mu Kampala ne Wakiso enzizi ebitundu 90% zijjuddemu obukyafu obutagambika, nga buva ku zikabuyonjo ezizimbibwa mu nkola etatuukiridde.
Ssenkulu wékitongole ki CIDI mu Uganda Hellen Kasujja asinzidde Mutungo mu kujaguza olunaku luno , naasaba gavumenti ebeeko kyekola ku kubunyisa zikaabuyonjo ez’omulembe mu bifo omubeera abantu abangi, omuli Obutale,amasomero, amasinzizo ne ku Nguudo zi mwasa njala nébifo ebirala.
Hellen Kasujja agamba nti ne kabuyonjo ez’ebinnya naddala mu bitundu eby’ebibuga nti zisaanidde zidibizibwe bazimbe ezikozesa amazzi nti kubanga ez’ebinnya zonoonya amazzi abantu gebakozesa.
Omwaka gwa 2018 wegwatuukira, nga Uganda abantu ebitundu 79% bebaalina kabuyonjo mu maka gabwe, ebitundu 11% nga bakozesa ku z’abaliraanwa, ate ebitundu 10 % nga beyambira webasanze naddala mu nsiko, mu myala n’abalala mu buveera n’emikebe gyebakasuka buli webasanze.
Okusiziira ku ministry y’eby’obulamu, abantu bagezezzaako okuzimba zi kabuyonjo, era nga basuubira nti omwaka 2030 gunaaba tegunatuuka Uganda ejjakuba etuuse ku bitundu 100% ng’abantu bonna balina kabuyonjo, ng’emu ku nteekateeka y’ebiruubirirwa by’ensi yonna ebyenkulakulala bwerambikiddwa (SDG 6) .
Alipoota ya ministry era eraga nti ekitundu kye Karamoja kyekikyasinga omuwendo omunene ogw’abantu abatakozesa kabuyonjo ng’abasinga beyambira mu nsiko.
Ekitundu ky’obukiika ddyo bwa Uganda ng’obalaamiriza odda ebugwanjuba (south-western Uganda) bebasinga okubeera ne kabuyonjo, nebaddirirwa Teso.
Ministry eraga nti ebitundu bya Buganda bikyalimu amaka mangi agatalina kabuyonjo naddala mu district ye Wakiso, Mityana ne Mukono.