Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde amagezi eri kkampuni za Yinsuwa mu ggwanga okwongera amaanyi mu kusomesa n’okubangula banna Uganda ku nkola n’emiganyulo gya Yinsuwa naddala mu kiseera ky’akatyabaga. Mukuumaddamula...
Banakyewa aba Islamic Relief- Netherlands nga bayita mubannamikago babwe aba Hear Uganda,badduukiridde abantu abenjawulo mu district ye Bukomansimbi, nebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. Ebintu ebiweereddwayo kuliko emifaliso, essuuka, bbulangiti,obutimba bw'ensiri...
Akakiiko ka parliament akalondoola enkozesa y'ensimbi z'omuwi w'omusolo mu bitongole bya government kaagala eddwaliro ekkulu e Kiruddu likomye okusasuza abalwadde era liggyewo 'private' abajaagala bagende mu malwaliro ga private. ...
Government ya Uganda okuyita mu ministry y'ebyobulambuzi etongozza polojekiti y'ekkadiyizo eritambula n’ekigendererwa ky’okukuηaanya bwino ku ddagala ly’ekinnansi n’okusomesa abantu emigaso n’enkozesa yaalyo. Minister omubeezi ow'ebyobulambuzi Hon Bahinduka Mugarra Martin ategeezezza...
Government ya Uganda ng'eyambibwako ekitongole kya Global Fund, baliko doozi zeddagala ly'empiso ery'ekika kya Lenacapavir lyebatuusizza mu ggwanga erigenda okukubwa abantu abali mu bulabe bwokukwatibwa mukenenya. Government egamba nti doozi...
Ábaaliko abayizi ku Budo Junior school ne King's college Budo nga bayita mu kibiina kyabwe ekibagatta ki Old Budonian Club, nga bayambibwako abakumpuni ya JESA badduukiridde abaana abatawanyizibwa obulwadde bwa...
Ekitongole ekiddukanya ekibuga ky’eggwanga ekikulu ki Kampala Capital City Authority kitongozza kaweefube w’okulwanyisa n’okutangira obubenje bw’okunguudo mu Kampala, nga businga kucaaka ennyo mu mwezi gwa December ogulimu ebikujjuko by'ennaku enkulu...
Olwaleero ennaku z'omwezi ziri 01 December,2025 lunaku lwakeefumiitiriza ku kawuka ka siriimu, nga wano mu Uganda emikolo gy'eggwanga giri mu district ye Bushenyi. Abalondoola eby'okulwanyisa akawuka kano ab'akakiiko ka Uganda...