President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asazzeewo okugira ng'ayimiriza enkola ya EFRIS emu ku nkola z'okusolooza omusolo ebadde evaako kaluma nywera wakati w'abasuubuzi ne URA ne batuuka n'okuggalawo...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga simumativu ne bamusigansimbi abattattana obutondebwensi , nga bayita mu kusanyaawo Entobazzi, Ebibira nébisaalu ebitalina kukolebwamu kintu kyonna, ekittattanye embeera y'obudde. Katikkiro agamba nti ng'Obwakabaka...
Munnamagye Major Nsamba Habib Katakabire myaka 54 afiridde mu kabenje ddeka busa akagudde mu Mabira mu kigundu ekimanyiddwa nga Sanga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. Emmotoka mwabadde...
Parliament eyisizza ebbago ly'etteeka erigyeewo ekitongole ki Uganda Trypanosomiasis Control Council nga kyekibadde kirwanyisa ebivvu ebivaako ekirwadde kya mongoota mu bantu ne Nnagana mu magana. Ekitongole kino ki Uganda Trypanosomiasis...
Twaha Ssonko omutuuze we Kitagabana Katwe Bugenge mu gombolola ye Mateete mu district ye Ssembabule, akwatiddwa nga kigambibwa nti alabirizza bazadde b'omwana ow'emyaka 5 nga bagenze okukola, n'amusobyako. Wabula maama...
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Katonto mu district ye Rakai Envubu bwerumyeeko abantu 4 amagulu nebaddusibwa mu malwaniro nga bali mu mbeera mbi, ate omu afudde. Kigambibwa nti Envubu eno...
Olukiiko lw'abalabirizi mu kkanisa ya Uganda olwa House of Bishops lulonze Rev. Canon Jacob Ateirweho ng'omulabirizi owomukaaga owa Bunyoro Kitala. Alondeddwa mu lukiiko lw'abalabirizi olutudde e Lweza. Abadde aweereza nga...
Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde ku bitaala by'e Nkumba ku luguudo oluva e Ntebbe okudda e Kampala. Ekimmotoka ekitambuza enkokoto ezimbisibwa ekya Kampuni ya SANY Cement Factory No UAN...
Munnauganda Annet Ssemuweba Mutaawe alondeddwa nga Ssaabawandiisi w'omukago gwa East Africa ow'ekiseera. Oukiiko lwaba minister abavunaanyizibwa ku nsonga z'omukago gwa East Africa, olwa East African council of ministers bebamulonze. Annet...